TOP

Rose: okikola otya?

By Musasi wa Bukedde

Added 18th July 2016

Rose Mwambi Singizi 52, mutuuze w’e Sseeta - Mukono azaalibwa omugenzi Francisco Kakwene ne Phina Kamasaza ab’e Ibanda. Ye nnannyini ssomero lya Little Stars Tenderness ne Little Stars Kindergarten e Najjanankumbi.

Ings 703x422

Rose Mwambi

Rose Mwambi Singizi 52, mutuuze w’e Sseeta - Mukono azaalibwa omugenzi Francisco Kakwene ne Phina Kamasaza ab’e Ibanda. Ye nnannyini ssomero lya Little Stars Tenderness ne Little Stars Kindergarten e Najjanankumbi.

l Twazaalibwa abaana 7 nga nze waakusatu wabula kitaffe n’afa nga tukyali bato era maama yaddayo mu bazadde be olw’embeera eyali enzibu.

Eyo gye twakulira era Pulayimale gye nagisomera mu Nyarukiika P/S mu Gombolola y’e Rukiri. Wadde maama yali mukozi, we natuukira okumalako P.7 ensimbi zaali zimwekubya mpi.

Olw’okuba ebiseera ebyo okusoma obusomesa kwali kwa bwereere, nasalawo okuva e Mbarara ne nzija ewa Kojja Mathias Mashahani e Bukoto bwentyo ne neegatta ku Nkozi TTC.

Saasanga buzibu e Nkozi kuba nali mugezi ate omukalabakalaba nga ne kojja ampa obuyambi, wabula engeri gye nnasoma nga nkyali muto ate nga ndi mumpi, abasomesa enkozi baagezaako okunnafuya nga bagamba nti ne bwe naaba nsomye nja kusanga obuzibu mu kugezesebwa kuba nnali waakusanga abayizi abakulu, kyokka ebyo tebyannemesa kye nnali njagala.

l Namala emyaka ena e Nkozi era ne nfuna eddaala eryokubiri mu busomesa ate olwo ne nzira e Mbarara nga mbeera wa kojja Bazilio Tebamanya e Nyabuhikye era eyo gye nnatandikira okusomesa mu Nyabuhikye P/S.

Nasomeseza omwaka gumu ate ne nvaayo ne neegatta ku Nyabushabi Service School e Kabaale ne nfuna eddaala eryokusatu mu busomesa.

Olwo nnalina obuvunaanyizibwa bungi okwali okulabirira maama ne baganda bange abaali balina okusoma, bwentyo nakomawo e Mbarara ne nfuna omulimu gw’obusomesa mu St. Aloysious e Nyamitanga era eno nasomesaayo emyaka ebiri era saafuna buzibu kuba abayizi bantyanga kuba olw’obukambwe newankubadde nnali mumpi era nga ndi muto. Enkya atulaga obukulu bw’okukolagana n’emikwano egizimba mu bizinensi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...