TOP
  • Home
  • Essomero
  • Engeri y’okutetenkanya fi izi za yunivasite

Engeri y’okutetenkanya fi izi za yunivasite

By Vivien Nakitende

Added 18th July 2016

ENNAKU zino, okuweerera omwana n’omutuusa ku yunivasite si kya muzannyo era abazadde abamu naddala ab’enfuna entono kye bakola omwana olumalako S.6 nga babalagira kweyiiya.

Fiizi1 703x422

Nantale ng’ali mu dduuka lye ne muwala we asomera e Sudan.

Bya VIVIEN NAKITENDE

ENNAKU zino, okuweerera omwana n’omutuusa ku yunivasite si kya muzannyo era abazadde abamu naddala ab’enfuna entono kye bakola omwana olumalako S.6 nga babalagira kweyiiya.

Abamu ku baana basobodde okutetenkanya ne beesomesa ku yunivasite n’abazadde abamu beesibye bbiri okulaba ng’abaana baabwe bamaliriza emisomo.

Tukuleetedde abamu ku bazadde nga balaga engeri gye bafuna mu bye bakola ne batetenkanya abaana baabwe basome.  

ZAM Nantale, ow’e Mutundwe atunda dduuka lye yateeka awaka naye aweerera muwala we, Hadijah Namatovu mu International University of Africa e Khartoum mu Sudan gy’asoma obusawo ng’asasula obukadde busatu buli lusoma.

Nantale agamba nti, okusobola okukola kino ayagala okutuukiriza ekirooto kye okulaba ng’abaana be basoma ne bafuuka ab’omugaso.

Annyonnyola nti yafuna ekibiina ekimukwasizaako okusasula ekitundu kya ssente zino olwo n’asasula ezisigadde n’ez’ebikozesebwa.

“Ssente z’edduuka ziba ntono, naye nfuba okutereka 4,000/- buli lunaku nga zino nziggya mu butunda bwe nkamula bwokka nga za mwana wa yunivasite.

Kuno kwe nnyongereza endala ne kitaawe Siraje Matovu z’atwongerezaako omwana n’asoma.

Eby’okwejalabya nabivaako kuba nkyetaaga okunoonya fiizi z’abaana bange era buli omu nnina omutemwa gwe mmuterekera buli lunaku. Lwe zigaana okuwera nneewola ne nsasula oluvannyuma, naye ng’abaana basomye.

Wabula omukebe gwa fiizi ze ntereka sigukwatako ne bwe nfuna kizibu kitya, waakiri neewola ne nsasula oluvannyuma. Nneetaba ne mu bibiina by’abakyala ebitereka ssente era nze nfuba okulaba nti omulundi ogwange okufuna gutuuka mu kiseera kya kusasula fiizi nazo ne nzongerezaako.

Olina okubeera n’okwagala okusomesa omwana kuba nakyo kikulu, kuba osanga omuzadde eyeesobola naye nga taweerera baana be.

Abaana nabo mbakubiriza obuteejalabya nga batunula mu nfuna yaffe ate n’okukolera ku muzadde bw’aba alina bizinensi ey’obwannannyini.

Madiah Namatovu muwala wa Nantale agamba nti asoma embeera za nnyina okumusaba fiizi. Ebisinga mbyeyazika ku bannange ate bye nnina ng’obutabo bwe seetaaga mbutunda ne ngulamu obulala.”

 

‘Nkola bitabo na misubbaawa ne ntereka buli wiiki’

JOSEPH Oteba asoma byakompyuta mu yunivasite e Makerere mu mwaka gwakusatu, era yeeweerera nga fi izi aziggya mu kukola n’okutunda ebitabo ssaako okukola emisubbaawa.

Nasooka kukolako mu 2010 nga fiizi ezinnyongerayo mu yunivasite zibuze.

Bwe nawezaawo obukadde bubiri ne ndowooza ku kuddamu okusoma era ne nsaba e Makerere mu 2012. Nalowooza ku kye nnyinza okukola okusobola okumalako okusoma era nasoma ku yintaneeti ne nfunako okukola emisubbaawa era ne ngikola ne nfuna n’akatale.

Nnalina kusasula 1,300,000/- buli lusoma era ng’emisubbaawa tegisobola kummazaako, mukwano gwange n’anjigiriza okukola ebitabo era mbikolera ku Nasser.

Bwe mbeera nsoma nateekayo muganda wange naye gwe nayigiriza era y’agiddukanya. Emisubbaawa ngikola kiro ate nsinga kukolera ku balagiriza.

Abeetaaga ebitabo bwe babeera bangi nga ndi ku ssomero, nfunayo omuntu omulala annyambako. Mpangisa n’ababitundira mu bifo eby’enjawulo ku makubo. Nalifuula tteeka buli wiiki okuteeka ssente ku akawunti emirundi ebiri ne bwe ziba ntono zitya kuba olwo lwe nsobola okusasula fiizi.

Bwe zigaana okuwera nsaba mukulu wange bwe tukola n’ansasulirako naye tekitera kubaawo.

 himbisibwe ngali wakanikira nokucaginga amasimu Ahimbisibwe ng’ali w’akanikira n’okucaginga amasimu.

 

Twaggulawo akawunti eya fiizi

DEO Ahimbisibwe, mutuuze mu Ndeeba alina mutabani we Darius Ahimbisibwe asoma diguli mu Developement Studies mu yunivasite e Kyambogo mu mwaka ogwokubiri era asasula 850,000/-.

Annyonnyola bw’afuna ssente: Okuweerera mutabani wange lutalo naye nnwana okusonda ssente kuba tezisobola kufunika lumu.

Kye nkola ntega emitego egy’enjawulo wadde mitonotono naye bwe nkuηηaanya mbaako we ntuuse.

Ntunda ebintu ebikadde omuli: ebitanda, entebe, ttivvi, fi riigi n’ebirala. Nnina n’olukuubo mwe nkanikira n’okutunda ebyamasannyalaze ebitonotono, ncaginga amasimu, ntunda eyatayimu, kati nagasseeko n’okutunda ‘Mobile Money’.

Ntunda ne cakala omutonotono ng’essaawa ne waleti z’abasajja. Nkola ne mukyala wange, Olive Nabaasa era twayongeramu ne bizinensi y’okutunda obusera n’okubusuubuza ng’omukyala y’abukola.

Twaggulawo akawunti ey’awamu okusonderako fi izi era buli luvannyuma lwa nnaku bbiri tutwalayo 30,000/-. Buli bizinensi gye tukola twagisalira ssente ze tuterekako wadde ntono. Abaana baffe bwe babeera tebasoma tukola nabo mu kunoonya ssente za fiizi.

Okuweerera buba bumalirivu n’okwerekereza ate n’okwagala kuba buli lw’oyagala ekintu okituukiriza.

MWEMANYIIZE OKUTEREKA – MUKUGU

Omukugu mu byenfuna, Hajji Jamil Ssebalu awa abazadde amagezi okusonda fiizi:

1 Kola bizinensi ez’enjawulo, naye funako emu gye weesibako evaamu ssente ez’omuzinzi.

2 Omuzadde weemanyiize okutereka era nakwo kibeere kitundu ku nsaasaanya yo. Bw’ofuna ssente ensaasaanya esooka kwe kuggyako omutemwa gw’okutereka.

3 Komya okuginya omwana, omwana asoma yunivasite asaanye okukola akuyambeko ku kusonda fi izi n’ebyetaago bye mu kifo ky’okukusabiriza buli kintu.

4 Omuzadde akola funayo bizinensi ez’ebbali oyongereze ku z’omusaala, awo fi izi teziggya kumenya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Newsengalogob 220x290

Lwaki toyagala kwegatta?

Ate okomawo ng‛obudde bugenze, kati yeebuuza obaomulimu gw‛okola gwe guleese embeera eno. Kati alowooza edduuka...

Newsengalogob 220x290

Nvaamu ekisu

LWAKI nvaamu ekisu nga neegasse n’omusajja?

Newsengalogob 220x290

Namukwatira mu bwenzi

MUKYALA wange namukwata lubona n’omusajja naye namusonyiwa.

Newsengalogob 220x290

Takyantuusa ku ntikko

omwami wange takyantuusa ku ntikko

Kamenke1 220x290

Abadde yaakayimbulwa bazzeemu okumukwatira...

Kiwanuka abadde yaakayimbulwa mu kkomera e Luzira gye yasindikibwa ku kibonerezo eky’emyaka etaano oluvannyuma...