TOP

Abalabi ba Bukedde Tv mulidde nga balimi

By Benjamin Ssebaggala

Added 22nd July 2016

EBIFUNA bigguse ku Bukedde TV abalabi bagenda kuwangula TV ez’omulembe ne dikooda mu kaweefube wa Bukedde okuddiza abawagizi.

Ebifunbukeddetv4 703x422

EBIFUNA bigguse ku Bukedde TV abalabi bagenda kuwangula TV ez’omulembe ne dikooda mu kaweefube wa Bukedde okuddiza abawagizi.

Dorah Namala owa Bukedde TV bwe yabadde ku mukolo gw’okutongoza akazannyo kano yagambye nti abantu bonna baddembe okwetaba mu kalulu kano akagenda okumala emyezi esatu ng’abalabi bawangula.

Okwetaba mu kalulu k’ebifuna ku Bukedde TV olina kugenda mu ssimuyo w’oweerereza obubaka n’oteekamu ekigambo ebifuna. Lekawo akabanga owandiike amannyago ne gy’obeera oweereze ku 8338. Bw’oweereza awo obeera oyingidde mu kalulu kano.

“Tujja kugenda mu maaso nga tuweereza ebibuuzo ku simuyo, gy’okoma okubiddamu emirundi emingi n’emikisa gy’okuwangula gy’eyongera,” Namala bwe yannyonnyodde.

Yagambye nti Ebifuna ku Bukedde TV kulu kajja kubeera ng’amannya g’abawanguzi galngirirwa mu kalulu akagenda okukwatibwa buli Lwakutaano ku Bukedde TV.

Ronald Kaggwa amyuka akulira Bukedde TV bwe yabadde atongoza akazannyo kano yategeezezza nti Bukedde Tv teyinza kwerabira bantu abagiwagidde kati emyaka musanvu kyokka yeekulembedde.

Yagambye nti ebigenda mu maaso ku kalulu k’Ebifuna ku Bukedde TV byakubeera nga birambululwa ku Bukedde Fa Ma ne mu lupapula lwa Bukedde era n’amannya g’abawanguzi gagenda kubeera nga galangirirwa ku mikutu gya Bukedde gyonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga