TOP

Johnson Basangwa: okikola otya?

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd July 2016

Jonson Basangwa, yinginiya eyaliko maneja wa kkampuni namba n’abivaamu okugenda okulunda kati ye nnannyini JEKA Poultry Farm e Kamuli.

Konka 703x422

Basangwa mu nkoko ze, ku ddyo, ge gamu ku magi g’alonda.

Jonson Basangwa, yinginiya eyaliko maneja wa kkampuni namba n’abivaamu okugenda okulunda kati ye nnannyini JEKA Poultry Farm e Kamuli.

Alaga engeri gy’akozeemu okutuuka ku ddaala kw’ali. “Kitange omugenzi Basangwa ow’e Bulopa mu Busoga gye nzaalibwa yali mulunzi era nange bwannemeramu.

Olukiiko Pulezidenti Museveni lwe yatuuza okugatta aba NRM n’asomesa ku bugagga obuli mu kulunda era lwe lwansimira omusingi gw’obugagga.

Olw’okulunda, ndi omu ku balimi Vision Group ne Bank ya DFCU be baatutte okulambula e Budaaki.

Mu 2007, nazimba ekiyumba ky’enkoko ne nzisaamu enkoko z’amagi 500. Mu myezi mukaaga zaali zitandise okubiika, ssente ezaavaamu ne ngulamu endala, ezaali ebitaano ne mpeza 3,000.

Okusooka nazibuwalirwa olw’obutaba na bumanyirivu wabula nnamalirira kuba bizinesi nnali njagala era mu ngeri eno, Katonda yannyamba bizinensi n’ekula.

Pulojekiti bwe yagejja, nagula poloti ya ffuuti 60 ku 300 e Bukwenge mu Kamuli ku 1,500,000/- ntuukirize ekirooto kyange.

Kuno nazimbako ebiyumba by’enkoko nga nnina n’okulundirako embizzi n’okulima.

Mu 2009, nayongeramu ssente ffaamu n’egejja ne ngituuma n’erinnya era okuva olwo siddanga mabega.

Mu 2010, nali omu ku balimi Pulezidenti Museveni be yalambula mu Busoga, n’ampa obukadde 10 ne kabangali empya.

Mu May 2011, nagula obubizzi, ku mbizzi ttaano ze natandika nazo kati mpeza 300.

KASOOLI ANNYAMBA OBUTASAASAANYA KU MMERE

Natandika ne yiika za kasooli ttaano, ze nzize ngaziya okutuuka ku 15, nga hhenderera okukendeeza ensaasaanya ku mmere.

Kino kinkoledde kuba ezaaligenze ku mmere zikola ku birala ng’okuzijjanjaba, okugemesa n’entambula, ate kasooli asigalawo mmutunda.

Kalimbwe y’agimusa ennimiro ate omu ne mutunda.

EBINNYAMBYE Tekinologiya :

Okufuula faamu ey’omulembe, nkozesa tekinologiya ow’ekika ekya waggulu nga natandikira ku masannyalaze okugonza ku mirimu n’okwongera sipiidi. Nasima nayikonto esundibwa amasannyalaze ne payipu ezitambuza amazzi. Buli kiyumba kirimu enywanto ez’amazzi ezeenasula zokka.

OMUSINGI KW’ATAMBULIRA

1 Obutasaasaanya ku mmere, nagula ekyuma ekitabula emmere n’ekisunda amazzi ng’amasannyalaze gavuddeko.

2 Mu pulojekiti y’embizzi, nkozesa ‘sow card’ ebeerako ebikwata ku buli mbizzi.

3 Okwewala endwadde, nassaawo eddwaaliro omujjanjabirwa ezirwadde n’ekinnya ekisuulibwamu ezifudde.

4 Nina ofiisi mwe nkuumira ebikwata ku pulojekiti zonna, era buli mwaka ndeeta ababalirizi ne babala ebitabo.

5 Nkola okunoonyereza ne mbuuza ku bakugu n’okusoma ennyo.

6 Ng’oggyeeko abakozi ab’enkalakkalira 24, n’ab’ebbali 40, nayingiza famire yange mu mulimu era ffenna tukolera wamu.

7 Buli antuukirira mmusomesa n’addayo akole kuba okubeera omugagga omu ku kyalo kirimu obuzibu, ate nsomesa ne ku leediyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jodan111 220x290

Dortmund enywezezza Sancho

Dortmund eyongedde Sancho endagaano n'emuweerako n'omusaala omusava.

Rashford111 220x290

Atendeka ManU agobye Pogba mu kukuba...

Solskjaer agamba nti Rashford y'alina okusooka okwesimba mu peneti za ManU ng'omuzannyi omulala tannagyesimbamu....

Buchanan asimbiddwa mu Kkooti y'amagye...

Omusubuuzi wa zaabu Samuel Buchanan asimbiddwa mu kkooti y’amagye n'avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n'amassi...

Kanso1web 220x290

Olutalo e Nakawa; Bakansala ne...

AKALEEGA bikya akali wakati wa meeya wa Nakawa, Ronald Balimwezo ne bakansala kasinze kwetooloolera ku nsonga za...

Buchanan asimbiddwa mu kkooti y'amagye...

Omusubuuzi wa zaabu Samuel Buchanan asimbiddwa mu kkooti y’amagye n'avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n'amassi...