TOP
  • Home
  • Agawano
  • ENSI EGUDDE EDDALU: Abakazi balowooleza batya mu ‘kuzaala’ abaana abazaalire!

ENSI EGUDDE EDDALU: Abakazi balowooleza batya mu ‘kuzaala’ abaana abazaalire!

By Musasi wa Bukedde

Added 24th July 2016

KYALI tekirabwanga abakazi ababiri okwesowolayo ne beesimba ku mwana omu ne bamukaayanira nti wange nze namuzaala ng’omulala bw’addamu nti, ‘nedda, nze namuzaala.’ Kyokka kati kino abakazi bakifudde mugano nga gwa nswa.

Batiza1703422 703x422

Tracy n’omwana we eyazuuliddwa. Ku ddyo ye Nakyanzi nnyina w;'omwana eyali abbiddwa

KYALI tekirabwanga abakazi ababiri okwesowolayo ne beesimba ku mwana omu ne bamukaayanira nti wange nze namuzaala ng’omulala bw’addamu nti, ‘nedda, nze namuzaala.’ Kyokka kati kino abakazi bakifudde mugano nga gwa nswa.

Anti abamu abaana baagala kubaggya ku bannaabwe, tebalina galumwa bisa na kwemenya kugenda mu leeba.

Bw’atyo ne Rose Nabulya bwe yakigwako, Noeline Namwanje bwe yeezinga ku mwana we n’amwekalizaako nti yamumubbako.

Namwanje yatandiikiriza mpola nga yeerogozza ng’omwana Rose Pamela Nannyomo bw’afaanana abaana be, gye byaggweera nga Nabulya aggaliddwa ku poliisi e Masaka ng’avunaanibwa ‘okubba’ omwana.

Abaffe, ensi tegudde eddalu? Ensi bw’egwa eddalu, abakazi beerabira nti okufuna omwana, olina kusooka kufuna lubuto n’olulera okumala emyezi mwenda be ddu olwo n’ozaala era ne bakukulisa nti ‘kawoneko.’

Naye abakazi bwe banaalindanga bannaabwe babazaalire, olwo bo bajje batandike okwewugguusa nti omwana wa gundi afaanana okuba owange, eby’okuzaala byakuggwaamu ensa. Era ekiseera kijja kutuuka ng’abantu eby’okulumwa ebisa tebakyabiriko, okuggyako okulinda oli azadde beekwase obusongasonga era bakozese n’omusimbi okulaba nga babba abaana ba bannaabwe.

Ggwe teebereza okukusiba nga bakulanga okubba omwana gwe wakeera enkya n’omusindika, n’omuyonsa era n’atandika n’okusoma! Bino byampuna. N’abaana tubataataaganya okubazunza nga tubazza eno n’eri.

Ggwe teebereza, Nannyomo yazaalibwa n’akula ng’akimanyi nti nnyina ye Nabulya. Aba ali awo nga Namwanje ayingiddewo nti ‘nze nnyoko omutuufu.’

Omwana asigala yeebuuza engeri gye yakulira mu mbuto za bamaama ababiri! Kannyabo ate ne kamaliriza nga kaggyiddwa ku bazadde baako ne katwalibwa mu mikono gya poliisi!

Abakazi bwe bateggyeemu butiitiizi ne badduka mu leeba nga balinda abaana abakulize, ensi yaakugwa eddalu lyennyini ekkankada. Bw’ova ku byange, genda ku wa ngatto!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga