TOP

By’olina okugenderera ng’olonda hositeero

By Musasi wa Bukedde

Added 25th July 2016

By’olina okugenderera ng’olonda hositeero

Ho1 703x422

Abayizi mu kisulo.

Obutakaluubirirwa mu kusoma ku yunivasite olina okusula obulungi. Waliwo amatendekero agalina ebisulo wabula engeri abayizi gye babeera abangi abamu beesanga balina kusula mu hositeero. Ku Uganda Christian University omwogezi yunivasite Prim Kesande agamba nti abayizi abali mu mwaka ogusooka ku kitebe ekikulu e Mukono bonna balina okusulamu.

Ku balala ayagala yasulamu oba oyinza okufuna hositeero. Hannington Katumba omukozi mu ttendekero ly’e Makerere agamba nti abayizi abamu basula mu bisulo bya munda abalala ne beefunira hositeero.

Abayizi be bawadde ku Gavumenti nga ba kkoosi za ssaayansi abasinga babawa awokusula. Wabula abayizi tebabagaana kugenda kusula mu hositeero oba okuva awaka. Ku bayizi abeesasulira abamu baweebwa omukisa okwesasulira ne basula mu bisulo eby’omunda mu yunivasite wabula olina okuwaayo okusaba era ne bakuddamu oba bakukkiriza.

Mulimu abayizi abatayagala kusula na bannaabwe mu bisulo by’omunda oba mu hositeero. Bano basalawo kupangisa nnyumba nnamba. Wabula omwana ng’anaalonda wa wagenda okusula alina okubaako ebintu bye yekenneenya obutasanga buzibu.

By ’ogenderera ku hositee ro 1. Okufuna hositeero omuyizi alina okufuna eyo egya mu ssente z’asobola. Okugeza waliwo hositeero ezirimu buli kimu nga ne ttivvi ogisangamu.

Zino zitera okuba ez’ebbeeyi zitandikira ku mitwalo 90 okutuuka ku kakadde. Wabula waliwo n’eziri wakati wa 250,000/- ne 300,000/- buli lusoma.

2.Faayo okumanya ku byokwerinda bwe biyimiridde. Waliwo hositeero ezimu eziri okumpi n’ensiko nga kyangu abantu ababi okwekwekamu ne bababba. 3. Okufuna ekifo nga musobola okwetaasa ssinga ekizimbe kiba kikutte omuliro. Balina okussaamu ebizikiza omuliro ate ne babayigiriza n’okubikozesa.

4. Obuyonjo kintu kikulu ng’omuyizi anoonya hositeero. Sooka olambule ebiyigo ne kaabuyonjo oba bya mutindo.

Ebimu babissaako abakozi ababiyonja oba abayizi okwekolamu omulimu. Weetegereze oba amazzi weegali ate nga agebiyigo tebakulukutira ku ngulu.

5. Hositeero zibaako obusenge obw’egyenjawulo. Wabaawo akasenge nga kagendamu ekitanda kimu. Waliwo omuba ddeeka ng’eno oba osasula ssente ensaamusaamu.

6. Genderera oba waliwo we muyinza okwoleza engoye zammwe n’okwanika. Oba weetaaga okwetaaya obulungi.

7. Faayo ku ngeri gy’onoofunamu emmere. Waliwo hositeero nga zibateerawo awookufumbira. Ate waliwo ezitabakkiriza kufumba wabula nga waliwo we muyinza okugula emmere etali ya bulabe ku bulamu bwo.

8. Genderera abantu b’ogenda okusula nabo oba bakolaganika nabo ng’enneeyisa yaabwe ekwatagana n’eyiyo.

9. Waliwo hositeero ezirina amateeka. Zino ziba nnungi kuba ziyamba okusunsula mu baziyingiramu. Ezimu ziragira abayizi bonna okuba munda ku ssaawa 6:00 ez’ekiro. Waliwo ezabawala ezitakkiriza balenzi mu bisulo. Weegendereze hositeero ezitalina mateeka ezitalina afaayo kubanga zisuza n’abatali bayizi abayinza okuba n’ebigendererwa ebibi.

10.Genderera olugendo oluliwo okutuuka ku ttendekero.

11. Waliwo hositeero ezirina emmotoka ezitambuza abayizi okugenda okusoma n’okubazza.

12. Omuyizi olina okwewala okusasula nga tolina ndagaano gy’owandiise ne nnannyini hositeero baleme kukwegaana. Balina okukuwa lisiiti nayo gitereke bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...

Newsengalogob 220x290

Ayagala tuddiηηane

WALIWO omusajja twali twagalana n’awasa omukyala omulala ne bazaala n’abaana naye kati yakomawo gyendi nti ayagala...

Newsengalogob 220x290

Sikyafuna bwagazi kwegatta

Naye ng’omwami wange alina abakyala abalala basatu nze takyanfaako era agamba nti abakyala abalala bamusanyusa...

Newsengalogob 220x290

Lwaki abasajja abamu tebaagala...

LWAKI abasajja abamu tebaagala bakazi oba muwala aliko embuzi?

Lovelies 220x290

Ebisoomooza ku mitendera egy’enjawulo...

ABAMU basala magezi ga kubuvaamu, sso ng’oyo atannabufuna asiiba asaba n’okwegayirira Lugaba amufunire omutuufu....