TOP

Ow'emyaka 18 afudde aggyamu olubuto!

By SHAMIM NABUNNYA

Added 26th July 2016

OMUVUBUKA atutte omuwala mu ddwaaliro okuggyamu olubuto kyokka omuwala n’afiira ku ddwaaliro e Kiruddu.

Twala 703x422

Nakato, abadde ow’emyaka 18.. Ku ddyo ye muninkini we Muteefu eyamututte mu ddwaaliro baggyemu olubuto

OMUVUBUKA atutte omuwala mu ddwaaliro okuggyamu olubuto kyokka omuwala n’afiira ku ddwaaliro e Kiruddu.

Emmanuel Muteefu, 23, ow’e Kyebando ng’akolera ku kizimbe kya Majestic mu dduuka eritunda eby’abagole, yakwatiddwa oluvannyuma lw’okufa kw’omuwala Cissy Zahara Nakato,18 ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde.

Kigambibwa nti omuwala ono, abadde akola mu kirabo ky’emmere ku Arua Park mu Kampala, yatwaliddwa mu kalwaliro akamu e Nsambya West Zone okuggyamu olubuto nga muganzi we Muteefu amuwadde emitwalo 11 aggyemu olubuto.

Bwe baamaze okulumuggyamu, n’atabuka. Abasawo baamuwadde owa bodaboda (ataategeerekese mannya, nga kati anoonyezebwa poliisi) n’amuvuga ng’alebaaleba.

Yamusudde ebweru w’eddwaaliro lya KCCA ery’e Kiruddu ku lw’e Salaama n’amulekawo n’avuga pikipiki ye n’adduka. Abantu baamukuhhaaniddeko era wano n’abasawo we bajjidde kyokka baabadde bakyamubuuza ogubadde, n’akutuka n’afa.

Baakubidde poliisi y’e Katwe n’enona omulambo n’egutwala e Mulago.

Ab’oluganda lwa Nakato baalabye abuze kwe kulumba Muteefu ku Ssande ne bamuyitira ne poliisi ku Majestic n’atwalibwa ku poliisi e Katwe.

Yakkirizza nti yawadde omuwala 110,000/- naye nti teyamugambye ky’agenda kuzikozesa.

DPC w’e Katwe Samuel Mission eggulo yagambye nti banoonya n’omusawo amanyiddwaako erya Steven, agambibwa okuggyamu omuwala olubuto.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...