TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abayizi abaagudde ku kabenje e Kiboga bakyanyiga biwundu

Abayizi abaagudde ku kabenje e Kiboga bakyanyiga biwundu

By Deborah Nanfuka

Added 30th July 2016

Beatrice Kyosaba 10, y’omu ku bayizi abaalumiziddwa mu kabenje e Kiboga takisi mwe baabadde bwe yawabye n’etomera emmotoka y’amanda eyabadde esimbye ebbali w’ekkubo nga bagenda okulambula.

Nyiga 703x422

Beatrice Kyosaba 10, y’omu ku bayizi abaalumiziddwa mu kabenje e Kiboga takisi mwe baabadde bwe yawabye n’etomera emmotoka y’amanda eyabadde esimbye ebbali w’ekkubo nga bagenda okulambula.

Kyosaba asoma P4, mu Bright Future Nursery and Primary Kyankwanzi. Baabadde bagenda kulambula Lubiri lwa Kabaka e Mmengo n’okusanyukirako ku bbiici e Ntebe.

Kitaawe Charles Balyesiima ow’e Kikonda e Kyankwanzi, agamba nti baatutte abaana abaagudde ku kabenje mu ddwaaliro wabula okwetegereza ng’owuwe taliimu kwe kuddayo ne bakebera ne bamusanga wansi mu manda nga gamubisse nga takyassa bulungi.

Agamba nti baamututte mu ddwaaliro ne babasindika e Mulago. Nnannyini ssomero, Tadeo Sendi yafiiriddewo.

Akabenje kaagudde Buswabulongo e Lwamata Kiboga ku Lwokusatu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Titi 220x290

Omutuuze w’e Kanyanya afiiridde...

Muky. Roninah Nakacwa Kyaterekera Kirumira 69, baamututte mu Amerika okumujjanjaba obulwadde bwa kansa kyokka n’afa...

Busy1 220x290

‘Nze ebya laavu nabivaako nneekubira...

BW’OBA onyumya n’omuyimbi w’ennyimba za laavu David Lutalo emboozi ye ewooma era mubeera mu kuseka n’okukuba obukule....

Gurad 220x290

Amasomero agatannafuna bigezo bya...

AMASOMERO agamu gakyalwana okuggyayo ebigezo by’abayizi baabwe ebya P7 mu UNEB, ekireese obweraliikirivu mu bazadde...

Won 220x290

Abagambibwa okuferera ku ssimu...

ABAVUBUKA abaakwatibwa oluvannyuma lw’okusangibwa n’obuuma obugambibwa nti babukozesa okubba kkampuni z’amasimu...

Pata 220x290

Abasajja bannemye okulondako

NNINA abasajja babiri era bombi bamalirivu okusinzira ku njogera n’ebikolwa. Naye omusajja omu alina abakyala babiri....