TOP
  • Home
  • Agawano
  • Nnyaabwe abalimbyelimbye nti agenda kubagulira sooda n'abaddukako

Nnyaabwe abalimbyelimbye nti agenda kubagulira sooda n'abaddukako

By Musasi wa Bukedde

Added 30th July 2016

POLIISI y’e Kitebi etubidde n’abaana basatu abaasuuliddwa nnyaabwe ng’abalimbyelimbye nti agenda kubagulira sooda ku dduuka n’adduka.

Baana 703x422

POLIISI y’e Kitebi etubidde n’abaana basatu abaasuuliddwa nnyaabwe ng’abalimbyelimbye nti agenda kubagulira sooda ku dduuka n’adduka.

Baasuuliddwa mu zooni ya St. Anne mu muluka gw’e Kabowa wiiki ewedde. Bano kuliko; Jane Nassiwa 4, Charles Peter Lwanga, 6 ne Edward Kateregga ow’emyezi omwenda nga baasuuliddwa okumpi n’ekifo kya Teresa House ekikulirwa Fr. Raymond.

Ssentebe wa zooni eno, Ben Mugerwa agamba nti ekifo kino abazadde basusse okusuulawo abaana nga basuubira nti Fr. Raymond, asabira abantu, ajja kubatwala abalabirire.

Agamba abakuuma ennyumba ya Teresa be baamuleetedde abaana bano n’abakwasa poliisi. Lwanga omu ku baana agamba nti babeera Buloba ne maama waabwe gwe bamanyiiko erya Jane ate taata ye Mutebi nti wabula tabeera waka ajja bwa lumu.

Yagambye nti, “Taata yazze awaka ne bayomba ne maama n’atambula n’agenda n’ategeeza nti tagenda kudda. Awo maama n’atugamba twambale atutwale ewa Faaza.”

Omwana ono agamba nti baatuuse mu kifo ekyo n’abagamba nti k’agende abagulire sooda, teyakomyewo.

Yagambye nti tasoma kuba nga maama abagamba nti talina ssente.

Akulira bambega ku poliisi e Kitebi Francis Kateega, yategeezezza nti abaana bano bagenda kukuumibwa poliisi okutuusa nga bazadde baabwe balabise.

Bagguddewo fayiro SD: 07/21/07/16.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nkumba2jpgweb 220x290

Abadde ayingira mu ofiisi z'ebizimba...

Allan Nkumba omutuuze w'e Kabowa mu Sserwadda zooni ye yakwatiddwa poliisi ya CPS ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okugenda...

Sjpgweb 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

Nze Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe