TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavumenti etandise entegeka z’okuyamba abagagga abatubidde mu mabanja

Gavumenti etandise entegeka z’okuyamba abagagga abatubidde mu mabanja

By Ahmed Mukiibi

Added 30th July 2016

ENTEGEKA za Gavumenti okuyamba Bannannyini kkampuni ne bizinensi ezitubidde mu mabanja ga bbanka, zitandise.

Abagagga703422 703x422

ENTEGEKA za Gavumenti okuyamba Bannannyini kkampuni ne bizinensi ezitubidde mu mabanja ga bbanka, zitandise.

Gavumenti etandise na kuwandiisa kkampuni n’abasuubuzi ababanja Gavumenti ya South Sudan nga bano beewandiisa mu Minisitule y’Ebyensimbi.

Omu ku bakungu mu Minisitule y’Ebyensimbi yategeezezza Bukedde nti we bwazibidde ku Lwokuna ng’abasuubuzi ne kkampuni 22 ezibanja gavumenti ya South Sudan ze zaakasunsulwa.

Ng’oggyeeko kkampuni ezibanja Gavumenti ya South Sudan, kkampuni n’abantu ssekinnoomu ababanja gavumenti ya Uganda nabo Minisitule y’Ebyensimbi yatandise okubawandiika n’ensimbi entuufu buli omu z’abanja zisobole okusasulwa nga bbanka tezinnabowa bintu byabwe.

Minisitule okusitukiramu kiddiridde Pulezidenti Museveni okusinziira e Kyankwanzi mu lusirika lwa Baminisita n’ategeeza nti Gavumenti egenda kuyamba bannannyini kkampuni ne bizinensi ezirina ebizibu by’amabanja ezigwa mu biti bisatu byokka:

1. Kkampuni ne bizinensi ezaagwa mu kitimba kya bbanka z’obusuubizi ne zeewola ensimbi ku magoba aga waggulu nga kati amabanja gabalemeredde okusasula, bbanka zaagala kuwamba byabuggagga by’abo abeewola.

2. Bannannyini kkampuni ne bizinensi abalina ebintu bye baaguza Gavumenti ez’omuliraano, naddala South Sudan kyokka nga tebasasulwanga.

3. Kkampuni n’abantu abakola bizinensi ne gavumenti ya Uganda wabula nga bamaze ebbanga nga tebasasulwa.

Museveni okuvaayo ku nsonga eno, kyaddiridde olukalala lwa kkampuni 66 ezigambibwa okuba nti bannannyinizo amabanja gabatuuse mu bulago, baagala Gavumenti ebafunire obuwumbi 1,300 basasule amabanja ago olwo bawewulweko ku mugugu.

Omwogezi wa Minisitule y’ebyensimbi, Jim Mugunga, yategezezza Bukedde nti Minisitule y’Ebyensimbi yasitukiddemu okussa mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti Museveni nga baatandikidde ku kuwandiisa kkampuni n’abasuubuzi ababanja gavumenti ya South Sudan, mu kiseera kino.

Ebirala........................

Abagagga balaajanye ne basaba Gavt. ebasasulire ku mabanja agajula okubatta!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mutu 220x290

Muwala wa munnamagye Kyaligonza...

PAULINE Ntegeka abadde abeera mu Bungereza, ku Lwokutaana yabadde agenda mu kinaabiro n’aseerera n’agwa n’akubawo...

Netherlands1 220x290

Budaaki ewadde Uganda obuwumbi...

EGGWANGA lya Budaaki likubye Uganda enkata ya buwumbi bwa ssente bubiri, ziyambe mu kutumbuka eby’obulambuzi mu...

Mus12 220x290

Aba NRM bawonye okupangisa

Aba NRM bawonye okupangisa

Masasi1 220x290

Bakutte omujaasi ku kutta aba Mobile...

BULIJJO abantu bamulaba n’ekidomola ky’amazzi ekya kyenvu, nga balowooza nti aguliramu mmere ya bisolo.

Top31 220x290

Aba NRM bawonye okupangisa

Aba NRM bawonye okupangisa