TOP

Bamukubye amasasi n'afa mpola ng'alaba!

By Musasi wa Bukedde

Added 31st July 2016

OMUVUBUKA akubiddwa amasasi mu bubbi e Kikandwa mu muluka gw’e Lungujja, Lubaga n’afa mu kiro ekyakeesezza olwa leero ku Ssande.

Fuga 703x422

Ronald nga bwe yalabise nga tannafa. EKIF: MAHAD WAMALA

OMUVUBUKA akubiddwa amasasi mu bubbi e Kikandwa mu muluka gw’e Lungujja, Lubaga n’afa mu kiro ekyakeesezza olwa leero ku Ssande.

Nga tannafa, yagambye nti ye Ronald Reagan n’agattako nti “Mbeera Nakulabye mu Kiyaaye. Maama wange ye Betty Namale abeera e Nateete. Taata yafa, naye mbadde sibba.

Nga bwe mumanyi Uganda yaffe eno, nange nsanze omuntu ng’akasitudde nange ne mmusuuza ηηende nneeyiiye.’’ Ye ne banne basatu baasangiddwa ow’ebyokwerinda, Badru Kizito, nga baakabba eby’omu nju okuli ne ttivvi ku mukazi eyategeerekeseeko erya Joyce.

Kizito yabayimirizza wabula ne bamukuba ttivvi ne badduka kwe kukubako omu amasasi ku ssaawa 8:00 ez’ekiro.

Abatuuze baayagadde okwokya Ronald wabula Kizito n’abatangira, omusaayi ne gumuggwaamu n’agenda ng’anafuwa okutuusa lwe yafudde ku ssaawa 10:00 ez’oku makya. Poliisi okuva e Kampalamukadde ng’ekulembeddwa DPC Muhammad Kirumira yazze n’etwala omulambo e Mulago.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata