TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bba ggwe yatemyeko omukono abasawo baguzzizzaako

Bba ggwe yatemyeko omukono abasawo baguzzizzaako

By Musasi wa Bukedde

Added 1st August 2016

ABOOLUGANDA lwa Judith Nakacwa, bba Siraje Kyeyune gwe yatemyeko omukono bagumbye ku ddwaaliro w’ajjanjabirwa nga bawera okwesasuza singa poliisi tesitukiramu n’ekwata omusajja eyadduse.

Hand1 703x422

Nakacwa ng’ajjanjabibwa.

Bya FLORENCE TUMUPENDE

ABOOLUGANDA lwa Judith Nakacwa, bba Siraje Kyeyune gwe yatemyeko omukono bagumbye ku ddwaaliro w’ajjanjabirwa nga bawera okwesasuza singa poliisi tesitukiramu n’ekwata omusajja eyadduse.

Nga bakulembeddwamu Leo Bukenya, baategeezezza nti si bakulekera Kyeyune mirembe okusigala ng’ayinaayina kyokka ng’omuntu waabwe apooca n’ebisago eby’amaanyi n’obulema bwe yamutaddeko obutagenda kuvaawo.

Basabye omuduumizi wa poliisi, Gen. Kale Kayihura asitukiremu ku nsonga zino oba si ekyo baakuwoolera eggwanga.

 mukono nga tegunnazibwako kibatu Omukono nga tegunnazibwako kibatu

 

Mu ngeri y’emu agambye nti ng’omusika wa famire, yagambye nti Kyeyune olukubwako ekimunye waakumuggalira ate awerennembe n’omusango gw’okubuzaawo muwala waabwe kuba tebamumanyi nga yatuuka n’okumuzaalamu abaana babiri.

NAKACWA ANNYONNYODDE ebya baddewo :

Zaabadde ssaawa nga 6:00 ez’ekiro ne mpulira omuntu ampita nti nzigulewo. Olw’okuba otulo twabadde tuntwaliriza nga nnaakannyuka okuva ku dduuka, nasobodde okumubuuza nti, ‘ggwe ani anziguzaawo essaawa zino?” Yazzeemu, ‘nti nze Kyeyune’.

Nagguddewo nga ndowooza nti akomezzaawo omwana gwe yabadde asigazza eggulolimu. Wabula olwayingidde mu nnyumba yambuuzizza ekinnyingiza ekikeerezi awaka.

Namuzzeemu nti nduddeyo nnyo ku dduuka era nnyingidde ku ssaawa nga 4:00 ez’ekiro. Nnagenze okulaba ng’asikayo ejjambiya gye yabadde ayambalidde mu ssweeta n’aginkubisa ku ttama.

 

Wano yagigaludde nahhamba nti kankumalirize ndabe abasajja gye banaakuggya. Yabadde na kigendererwa nkuntema bulago kyokka kwe kwekussaawo omukono n’agutemera mu kiseke ekitundu ne kigwa wali.

MUGANDA W’OMUTEMU ALAAJANYE

Murushid Kafuuma alaajjanidde ebenganda za Nakacwa okukkaanya ku bujjanjabi waakiri babugabanire wakati kuba mu kiseera kino Kyeyune talabikako .

Ye Dr Habert Lwanga yategeezezza nti wadde ng’ekitundu ky’omukono ekyatungiddwaako, kyaleeteddwa nga kimaze okuwola naye wakyaliwo essuubi nti embeera oba olyawo ejja kudda mu nteeko.

Ekikangabwa kino kyagudde mu kabuga k’e kinoni mu ggombolola y’e kisekka mu disitulikiti y’e Lwengo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...