TOP
  • Home
  • Agawano
  • Owa sipensulo e Kampala bamusse omulambo ne bagusuula e Kalungu

Owa sipensulo e Kampala bamusse omulambo ne bagusuula e Kalungu

By Ssennabulya Baagalayina

Added 1st August 2016

OMULAMBO ogw’okusatu ogwazuuliddwa e Kalungu gwa muvuzi wa sipensulo nga baamuggye Kampala.

Poliisi 703x422

Musa Mukasa eyatiddwa nga bw'abadde afaanana (mu katono). Mu kifaananyi ekinene nga Poliisi essa omulambo gwe ku kabangali yaayo okutwalibwa mu ddwaaliro okwekebejjebwa. EKIF: SSENNABULYA BAAGALAYINA

OMULAMBO ogw’okusatu ogwazuuliddwa e Kalungu gwa muvuzi wa sipensulo nga baamuggye Kampala.

Musa Mukasa 42, abadde asimba ku Magoba Arcade mu Kampala ng’amaka ge gali Namagoma ku luguudo lw’e Masaka gwe basse oluvannyuma lw’okumunyagako emmotoka y’ekika kya Ipsum UAV 473 B.

Abooluganda baafudde ensisi ab’eddwaaliro e Masaka bwe baabatutte mu kinnya mwe baaguziika nga kirimu emirambo emirala esatu nga ogwa Mukasa gwe gusooka ku ngulu.

Haji Mustafa Yahaya Katongole ne Rameca Lubyayi baategeezezza nti muganda waabwe yababulako ku Ssande ng’abaamutta baamukubira ssimu ne bamusaba abatwaleko era okuva olwo tebaddamu kumulaba.

Bannyonnyodde nti omugenzi yali waka ne bamukubira essimu abasisinkane Magoba waakolera era n’asiibula mukyala we Hadijah Namata gw’alinamu abaana bataano.

Ku ssaawa 4.00 ez’ekiro yamukubira essimu nga teriiko n’alowooza nti eweddeko muliro.

Nga wayiseewo ennaku baatandika okumunoonya ne bamuzuula nga baamusse omulambo ne bagusuula e Kalungu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pata 220x290

Abasajja bannemye okulondako

NNINA abasajja babiri era bombi bamalirivu okusinzira ku njogera n’ebikolwa. Naye omusajja omu alina abakyala babiri....

Send 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

NZE Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Bere 220x290

Ono si katono ‘abasibe’ bamwewagguleko...

MWANAMUWALA ono y’omu ku baabadde balya obulamu ku kivvulu ekyatuumiddwa Floral & Cocktail Party ekyabadde ku Jahazi...

Siri 220x290

Ababadde basekerera Julie ku bya...

“ABABADDE banjogera ebigambo bibakalidde ku mimwa kati mundeke nfumbire omwami wange Ssekajugo omu bwati.”

Wanted1 220x290

Mujje mu Harvest Money muyige okugoba...

AKAWUKA akakaza ebitooke kye kimu ku kivuddeko ensuku nyingi naddala mu Buganda okukutuka ng’ebitooke bikala ne...