TOP
  • Home
  • Agawano
  • Aba St. Lawrence basabidde Polof. Mukiibi

Aba St. Lawrence basabidde Polof. Mukiibi

By Musasi wa Bukedde

Added 1st August 2016

ABAYIZI n’abasomesa mu masomero gonna ageegattira mu St. Lawrence Schools eggulo gaategese okusaba okw’enjawulo eri omutandisi era nnannyinigo, Polof. Lawrence Mukiibi, adde bulungi engulu.

Saba 703x422

Polof. Mukiibi

ABAYIZI n’abasomesa mu masomero gonna ageegattira mu St. Lawrence Schools eggulo gaategese okusaba okw’enjawulo eri omutandisi era nnannyinigo, Polof. Lawrence Mukiibi, adde bulungi engulu.

Okusaba kuno okwetabiddwaamu n’abamu ku baasomerako mu masomero gano, kwagendereddwaamu okulaajanira Katonda assuuse Polof. Mukiibi, eyagwa ku kabenje okumpi n’erimu ku masomero ge, erya Horizon Campus mu Nnakati okumpi n’e Nabbingo ku luguudo lw’e Masaka wiiki ewedde.

Okusaba kwabadde ku matabi omuli; London College e Maya, Crown Campus e Nabbingo, Paris Palais e Katende, Horizon campus ne The Academy ng’okyamye ku ky’e Buddo.

Okusaba we kujjidde ng’abasawo b’oku ddwaaliro lya Norvic ku Bombo Road, bakola butaweera okulaba nga Polof. Mukiibi atereera oluvannyuma lw’okufuna ebisago eby’amaanyi ku mutwe.

Tom Kalungi, omuyizi ku Paris Palais campus, yagambye nti basubwa nnyo omukwano gwa Polof. Mukiibi kubanga bamutwala nga kitaabwe nti kyokka bagumu nga Mukama ajja kumuzza bulungi engulu.

Polof. Mukiibi yagwa ku kabenje ku Lwokubiri, mmotoka gye yali avuga bwe yatomerwa kabangali (Double Cabin) ng’akyama okugenda ku ssomero lye erya Horizon Campus.

Ensonda mu beng’anda ne mikwano gye gyategeezezza nti waliwo entegeka z’omukwatala ebweru ayongere okujjanjabwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kola 220x290

Boofiisa ba poliisi Muhangi ne...

EYALI akulira ekitongole kya Flying Squad, Herbert Muhangi abadde amaze emyaka ebiri mu kkomera ng’avunaanibwa...

Na 220x290

‘Mukebere nnamba z’essimu okuzuula...

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga aka Uganda Communication Commission (UCC) kalagidde abakozesa...

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...