TOP
  • Home
  • Ebifuna
  • Maama yalya ssente zange we nali nsuubira ennyumba nasangawo musiri gwa muwogo

Maama yalya ssente zange we nali nsuubira ennyumba nasangawo musiri gwa muwogo

By Kizito Musoke

Added 1st August 2016

GILBERT Kayondo ow’e Buloba Kasero agamba nti taliddamu kwesiga muntu yenna k’abe wa luganda oba mukwano gwe.

253057houses 703x422

GILBERT Kayondo ow’e Buloba Kasero agamba nti taliddamu kwesiga muntu yenna k’abe wa luganda oba mukwano gwe.

 ‘‘Namala emyaka musanvu ku kyeyo e Dubai nga nkola kiro na misana. Bwe nnawezaawo ssente, nakomawo e Uganda mu 2012 ne ngula poloti e Bunnamwaya. Oluvannyuma naddayo ne nziramu okutoba era buli ssente ze nawezangawo ng’aziweereza maama wange akwasaganye eby’okuzimba. Ssente naziyisanga mu kkampuni ya IIK esangibwa ku kizimbe kya King Fahad mu Kampala.

 Nga wayise omwaka, maama yansindikira ebifaananyi by’ennyumba eyali ebulako akatono okuggwa. Kino kyanzizaamu amaanyi ne nnyongera okupakasa n’amaanyi okugimaliriza nga n’oluusi ssente nzeewola ku mikwano gyange e Uganda ne bazimutwalira.

 Mu December wa 2013, bankebera nga ndi mulwadde nga ntandise n’okugonda ne nsalawo okudda e Uganda nga bwe nkola ebintu ebirala.

Saategeeza muntu yenna era natuukira wa muganda wange e Sseguku eyakubira maama essimu.

Ekyanneewuunyisa maama yadda mu kuyomba n’okunkambuwalira ng’abuuza lwaki nkomyewo mu kifo ky’okukola ssente.

Bwe nagezzaako okumunnyonnyola n’aggyako essimu era nagenda okutuuka awaka munnyonnyole ekinkomezzaawo nga yaddukawo ng’ate we nali nsuubira ennyumba waliwo musiri gwa muwogo ekyannyongera okugonda.

 Nga wayise omwaka gumu, maama namusonyiwa bwentyo emyaka gye namala ku kyeyo ne ginsala era nadda ku zero kati njiiya bipya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...