TOP
  • Home
  • Agawano
  • Omusuubuzi atondose n'agwa n'afiirawo ng'agenda ku Kkanisa ya Watoto okusaba

Omusuubuzi atondose n'agwa n'afiirawo ng'agenda ku Kkanisa ya Watoto okusaba

By Ponsiano Nsimbi

Added 1st August 2016

ABASUUBUZI b’oku Arua Park mu Kampala baguddemu ekikangabwa munnaabwe bw’atondese n’agwa n’afiirawo bw’abadde agenda okusaba ku kkanisa ya Watoto mu Kampala.

Peter51 703x422

Omugenzi Peter Odwee

ABASUUBUZI b’oku Arua Park mu Kampala baguddemu ekikangabwa munnaabwe bw’atondese n’agwa n’afiirawo bw’abadde agenda okusaba ku kkanisa ya Watoto mu Kampala.

Peter Odwee Awio, 56, ow’e Bbunga, Ggaba mu Makindye, yanegukidde kumpi ne siteegi ya bodaboda ku Equatoria Shopping Mall ku ssaawa 2:00 ez’oku nkya ku Ssande.

Michael Muchunguzi, omukuumi ku kizimbe kino, yagambye nti Odwee yavudde ku Arua Park ng’atambula mpolampola nga bw’ayogerera ku ssimu ng’eno omusajja omulala bw’amukwatidde ku nsawo.

Bwe baatuuse mu kkoona eryambuka ku Watoto, n’agwa. Omusajja gwe yabadde naye yalonze essimu Odwee gye yabadde ayogererako n’asuulawo ensawo n’adduka.

Aba bodaboda be baayoddeyodde Odwee ne bakubira Poliisi ya CPS nga wano ne muwala w’omugenzi, Sarah Awiyo, we yatuukidde n’akakasa nti ono kitaawe.

Omulambo baagututte e Mulago. Awiyo, yategeezezza nti yayawukanye ne kitaawe ku Lwomukaaga ekiro oluvannyuma lw’okulya ekyeggulo ku Antonio’s ng’alina okugenda mu ddwaaliro ku Ssande ajjanjabwe obulwadde bw’entunnunsi ne ssukaali.

Mbega ku poliisi ya Kampalamukadde, Henry Peter Walya, yagambye nti banoonya omusajja eyabadde ne Odwee.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kuba 220x290

Munnayuganda atuuziddwa nga omusumba...

MUNNAYUGANDA eyalondebwa okufuuka Omusumba w’essaza ly’Eklezia erya Aliwal e South Afrika atuuziddwa mu kitiibwa,...

Br1 220x290

Leero mazaalibwa ga Jose Roberto...

Leero mazaalibwa ga Jose Roberto Gama De Olivieira amanyiddwa nga Bebeto eyali emmunyenye ya Brazil

Carol 220x290

Omwawule akoze siteetimenti ekontana...

REV. Isaac Mwesigwa bwe yaggyiddwa e Soroti yatwaliddwa butereevu ku kitebe kya poliisi e Naggulu mu Kampala n’akola...

Jit1 220x290

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka...

Poliisi etandise omuyiggo gw'abavubuka abagambibwa okukuliramu okwekalakaasa e Kawempe

Kola 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu, tukulaze...

OKUFAANANAKO Vanilla, abantu bangi baalima Moringa naye oluvannyuma ne bamutema yenna bwe baabulwa akatale era...