TOP
  • Home
  • Agawano
  • Omuzannyi w’Ebinnayuganda akaabizza abantu ku mbaga ye

Omuzannyi w’Ebinnayuganda akaabizza abantu ku mbaga ye

By Musasi wa Bukedde

Added 1st August 2016

OMUZANNYI wa firimu z’Ebinnayuganda, Omulangira Joel Nakibinge yakaabizza abantu amaziga bwe yalombozze ennaku gye yayitamu ng’ali mu kkomera ly’abazzi b’emisango gya nnaggomola e Nalufeenya mu disitulikiti ye Jinja .

Samba 703x422

Loodi meeya Lukwago (ku kkono) ng’abuuza ku bagole.

OMUZANNYI wa firimu z’Ebinnayuganda, Omulangira Joel Nakibinge yakaabizza abantu amaziga bwe yalombozze ennaku gye yayitamu ng’ali mu kkomera ly’abazzi b’emisango gya nnaggomola e Nalufeenya mu disitulikiti ye Jinja .

Yabadde ayogera eri abagenyi abazze ku mbaga ye bwe yagattiddwa ne mukayala we Maria Bankiya ku mukolo ogwabadde mu bimuli bya meeya ku City Hall.

Yattottodde nti ennaku gye yalabira mu kkomera empitirivu yali tamanyi nti yali waakuvaayo nga bwe yagenda kubanga abantu be baamusiba nabo tebaali bantu nga kibeera kizibu okusibira mu kkomera lino n’akomawo nga togudde ddalu oba okulemala olw’engeri abaliyo gye batulugunyizibwamu okubaggyamu obujulizi.

Nakibinge yali yakwatibwa gye buvuddeko wakati mu kutegeka embaga ye n’atwalibwa mu kkomera e Nalufeenya ku misango egiteeberezebwa okuba egy’ekitujju era yatwala akabanga nga tamanyiddwa gyali.

Oluvannyuma yateebwa ku kakalu ka kkooti. Bannakibinge baagattiddwa mu lutikko e e Lubaga nga Fr. Joseph Kato ye yakoze omukolo.

Omukolo gwetabiddwaako bannabyabufuzi omwabadde loodi meeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago, Omubaka wa Lubaga South Kato Lubwama ne meeya w’e Makindye, Ali Nganda Mulyannyama.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...