TOP

Yeefudde omuserikale wa Poliisi n'afera omugagga

By Musasi wa Bukedde

Added 4th August 2016

POLIISI y’e Iganga ekutte abavubuka ababadde agezaako okufera omugagga nga yeefudde omuserikale wa poliisi.

Saba 703x422

Batambuze nga yakakwatibwa poliisi.

POLIISI y’e Iganga ekutte abavubuka ababadde agezaako okufera omugagga nga yeefudde omuserikale wa poliisi.

Micheal Batambuze 27, ne banne okukwatibwa kiddiridde Haji. Muhamod Magumba okwekubira enduulu ku poliisi ng’agisaba emutaase ku muserikale waayo abadde amuyigga ng’agamba nti ayagala kumusiba olw’omwana w’omutuuze eyagwa mu kidiba kye n’afi iramu.

Poliisi yakoze okunoonyereza n’ekwata Batambuze n’emutwala ku kidiba mw’agamba nti omwana mwe yafiira mu Nabidogah Zooni mu kibuga ky’e Iganga era nga poloti kwe kiri omugagga we yasooka okusula.

Batambuze olwatuuse ku kidiba yeegaanyi ebyayogeddwa omugagga nti abadde amukubira nga yeefuula omuserikale wa poliisi n’agamba nti omwana gw’amanyi yagwa mu kidiba mu biseera by’ekisiibo kyokka nga n’ekidiba kye yaggwamu tekyali kya mugagga.

Wabula Haji Mugumba yagambye nti aludde nga waliwo omuntu amunoonya olw’omwana eyafi ira mu kidiba kye.

Yagambye nti Batambuze yagenda ku ssomero lya Haji Magumba erya Abuhuriara Islamic Centre n’abuuza akulira essomero amulagirire nnannyini ssomero gy’ali era n’abaako we yawandiika amannya ge kyokka bwe baamukutte ng’amannya ge tegafaanana na ge yawandiika mu kitabo.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, James Mubi yagambye nti Batambuze yakwatiddwa ne banne abalala babiri nga bagenda ku ssomero lya Haji Magumba era bwe baabuuziddwa ne bategeeza nga bwe bali abaserikale okuva ku poliisi y’e Iganga nga baabadde banoonyereza ku nnannyini ssomero.

Yagambye nti Batambuze tabeerangako muserikale wa poliisi. Baamuguddeko omusango gw’okweyita kyatali.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Cab1 220x290

Jennifer Musisi awangudde engule...

Jennifer Musisi awangudde engule e Netherlands

Santi22 220x290

Bamukakasizza ku butendesi bwa...

Solari, eyazannyirako Real wakati wa 2000 ne 2005, okuva lwe yakwata enkasi ya kiraabu eno ng'omutendesi, yaakawangula...

Swingsmadeoutoftireswebuse 220x290

Weenogere ssente ng’oyongera omutindo...

Buli kintu ekiva ku mmotoka tokisuula kuba kirimu ssente ssinga olowooza n'obyongerako omutindo.

Nkonerako 220x290

Nnoonya alina "waaka"

Njagala omukyala alina ku ssente, amanyi omukwano, ng’ali wakati w’emyaka 20-30, talina siriimu kuba nange ndi...

Umar1 220x290

Umar Mwanje atandise okulya ku...

OMUYIMBI Umar Mwanje (ku ddyo) eyayimba ennyimba nga ‘‘Omwana wa musajja, Ttivvi y’omu ddiiro, Nnina ekyejo n’endala...