TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Munnayuganda e Japan adduukiridde gwe batemyeko omukono

Munnayuganda e Japan adduukiridde gwe batemyeko omukono

By Musasi wa Bukedde

Added 20th August 2016

MUNNAYUGANDA abeera e Japan adduukiridde Judith Nakacwa bba gwe yatemyeko omukono ogwa kkono.

More1 703x422

Omukozi wa Bukedde Florence Tumupende ( ku kkono) ng’akwasa Nakacwa ssente.

MUNNAYUGANDA abeera e Japan adduukiridde Judith Nakacwa bba gwe yatemyeko omukono ogwa kkono.

Nakacwa yasiibuddwa mu ddwaaliro wabula omukono gwe baali bazzizzaako oluvannyuma abasawo baasazeewo okuguggyako oluvannyuma lw’okukizuula nti emisuwa gyafiira ddala tegukyasobola kukwatagana na kitundu we baagutemera.

Oluvannyuma lw’emboozi ya Nakacwa okufulumira mu Bukedde, Munnayuganda Vincent Kawanga Ssemwogerere abeera e Japan yamuweerezza 100,000/= zimuyambeko ku bujjanjabi era ne zimukwasibwa omusasi wa Bukedde Florence Tumupende ku Lwokubiri.

Nakacwa yasiimye Ssemwogerere olw’omutima omuyambi era n’asaba ne Bannayuganda abalala okumulabirako bamuyambe kubanga takyasobola kwekolera mirimu gye mwe yaggyanga ensimbi nga bba Siraje Kyeyune tannamutema mukono omwezi oguwedde.

Yeebazizza n’abantu bonna abamudduukiridde omuli n’abasindise ssente ku Mobile Money wamu n’ababadde bazimutwalira obutereevu mu ddwaaliro e Lwengo gy’abadde ajjanjabirwa. Nakacwa yali musomesa era alina essuubi nti bw’anaawona bakamabe bayinza okukkiriza okumuzza ku mulimu.

Kyokka yakukkulumidde poliisi gye yagambye nti tekoze kimala kuyigga Kyeyune avunaanibwe.

Nakacwa yagambye nti Kyeyune yali ayagala kumutema nsingo wabula n’assaayo omukono era gwe yatema ne gugwa wali. Nti yamutema amulumiriza bwenzi ate nga tebyali bituufu.

Yagambye nti kati yeewogomye wa mukwano gwe kubanga ewuwe atyayo kuba omusajja ayinza okujja n’amutta kubanga ebigendererwa bye bya kukakasa nti Nakacwa afa era essaawa yonna ayagala kukituukiriza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo