TOP

Wuuno eyatomera omuwagizi wa Besigye

By Eria Luyimbazi

Added 23rd August 2016

POLIISI eraze ddereeva waayo eyatomera omuwagizi wa Dr. Kizza Besigye mu bugenderevu ku Kaleerwe ebbali w’oluguudo bwe yali amukulisa ekkomera gye buvuddeko nga July 12, 2016.

Matsiko5 703x422

Omupoliisi Matsiko ku mpingu e Naggulu eggulo.

POLIISI eraze ddereeva waayo eyatomera omuwagizi wa Dr. Kizza Besigye mu bugenderevu ku Kaleerwe ebbali w’oluguudo bwe yali amukulisa ekkomera gye buvuddeko nga July 12, 2016.

Benon Matsiko, avuga kabangali ku poliisi ya Kira Road yakwatiddwa oluvannyuma lwa poliisi okukola okunoonyereza.

Eyaakalondebwa ku bwogezi bwa Poliisi mu ggwanga, Andrew Felix Kaweesi, eggulo yagambye nti okukwata Matsiko, Poliisi yayise mu kitongole kyayo ekya Professional Standards Unit (PSU) ne beetegereza akatambi ssaako okuyita baddereeva ba mmotoka za poliisi zonna ezaali zigoberera Dr. Besigye okudda e Kasangati ku lunaku olwo.

Wano we baazuulidde Matsiko nti ye yali mu kabangali nnamba UP 4832 n’asiiwuuka empisa n’okuttattana ekitiibwa kya Poliisi.

Kaweesi yagambye nti kati banoonya wa poliisi eyasamba omusajja eyali atomeddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata