TOP
  • Home
  • Agawano
  • Abagambibwa okutta owa sipensulo mu Kampala omulambo ne bagusuula e Kalungu basindikiddwa ku alimanda

Abagambibwa okutta owa sipensulo mu Kampala omulambo ne bagusuula e Kalungu basindikiddwa ku alimanda

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd August 2016

POLIISI be yakutte ku gw’okutta omuvuzi wa sipensulo ku Magoba Arcade mu Kampala kkooti ebasindise ku limanda. Kuliko omwetissi w’emigugu mu Kikuubo omulala akuba engatto.

Mutemu1 703x422

Omuwala, Prossy Nassaka, gwe baakutte n'essimu y'omugenzi n'agamba nti ye baamutonedde nga kirabo. Ali mu jaketi eya bbulu ye Ibra Kasekende eyatuga omugenzi Musa. Ate asemba ku ddyo ye Yasin Lukyamuzi, eyasuula omulambo gwa Musa e Kalungu nga bamaze okumutta. EBIFAANANYI : YUDAAYA NAMYALO

Bya YUDAAYA NAMYALO

................................................................................................

POLIISI be yakutte ku gw’okutta omuvuzi wa sipensulo ku Magoba Arcade mu Kampala kkooti ebasindise ku limanda. Kuliko omwetissi w’emigugu mu Kikuubo omulala akuba engatto.

Bano olwabakutte ne bakkiriza nti baapangisizza Musa Mukasa abadde avuga Ipsum UAV 473B ku Magoba arcade ne bamubuzaawo ne bamutta.

 motoka yomugenzi usa ukasa Mmotoka y'omugenzi Musa Mukasa

 

Omulambo baagusudde Kyamuliibwa Kalungu ab’Oluganda lwe baagenze okumuzuula nga bamaze okumuziika mu limbo y’eddwaliro e Masaka.

Omulamuzi Samuel Munoba mu kkooti e Masaka yasindise Ibra Luswata 27 ow’e Nansana ne Yasin  Lukyamuzi ow’e Namagoma   ku lw’e Masaka ku limanda okutuusa October 12, 2016. Luswata yeetikka migugu ate Lukyamuzi  akuba ngato ku Nambusi arcade mu Kampala.

Ekitongole kya Flying Squad kye kyabakutte ne balumiriza omusawo w’ekinnansi, Bosco Muwanga Bwanika, eyabadde abawadde eddagala okweganga baleme kubakwata.

 motoka yomusamize uwanga pokliisi gyeyakutte no yalonkoomeddwa banne kyokka nateekako kakokola tondekannyuma era ku ssabo lye baasanzeewo mmotoka yokka Mmotoka y'omusamize Muwanga pokliisi gyeyakutte. Ono yalonkoomeddwa banne kyokka n'ateekako kakokola tondekannyuma era ku ssabo lye baasanzeewo mmotoka yokka.

Poliisi yakutte Prossy Nasaka  gwe baakukunudde e Nabusanke mu Mpigi nga baamusanze n’essimu y’omugenzi.

Yategeezezza nti Luswata yabadde agimutwalidde ng’ekirabo kyokka Bwanika yadduse. Ebbaluwa y’abasawo eriko nnamba ya poliisi CRB 391/2016  ekakasa nti Mukasa battamutte.

Ebirala.......

Owa sipensulo e Kampala bamusse omulambo ne bagusuula e Kalungu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Abanywarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...

Omwanangasenaamazzikuluzziwebusemwana 220x290

Ab'e Birinzi balindiridde kulwala...

Kaabuyonjo ze tusima mu musenyu okw'enkuba zibooga kazambi n'ajjula enju zaffe