TOP

Obusimu mu masomero

By Musasi wa Bukedde

Added 5th September 2016

Essimu bw’aba musomesa oyinza okumwogerako nti yakyasinze okumanya ebintu ebingi kyokka ekibi kye nti tasengejja mu by’asomesa ebirungi n’ebibi byonna abisomesa.

Gudde 703x422

Abayizi ba Vienna College nga beekuba ebifaananyi n’essimu.

Essimu bw’aba musomesa oyinza okumwogerako nti yakyasinze okumanya ebintu ebingi kyokka ekibi kye nti tasengejja mu by’asomesa ebirungi n’ebibi byonna abisomesa.

Ebimu ku bintu abazadde bye bagulira abaana okweyambisa mu kusoma mwe muli amasimu.

Amasimu malungi wabula olw’obutasengejja galeetedde abayizi obuzibu obw’enjawulo ekivuddeko amasomero okugawera.

Abantu bangi beebuuza nti ku mulembe guno ogwa tekinologiya lwaki amasomero tegakkiriza bayizi kukozesa masimu mu kusoma? Moses Ssewankambo, Light secondary school e Bulenga:

Ebizibu essimu bye yandeetera siyinza kuddamu kugyesembereza. Nali neesunga okutuukako mu siniya nga mmanyi yo bakkiriza abayizi okukola kye baagala.

Nali njagala okubeera n'essimu era wadde baali tebazitukkiriza bwe nali mu ssomero erimu e Nansana nafuba okulaba nga ngifuna.

Yammaliranga ebiseera kuba oluusi nga mba nzannya buzannyo wadde omusomesa asomesa.

Lumu omusomesa yankwata nayo mu kibiina ne bansindika awaka nnone omuzadde.

Natya kuba si be baali bagimpadde era kwe kugenda ewa ssenga. Naye yasooka kungobaganya wabula oluvannyuma n’akkiriza okuntwala ku ssomero.

Bankuba kibooko era nabonerera sikyaddayo kutwala ssimu ku ssomero. Kino kyampaliriza n’okukyusa essomero.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup

Human 220x290

Rema atambula akaada: Abatimbi...

Ebimu ku binaakozesebwa mu kwanjula kwa Rema Namakula bitandise okutuuka awanaabeera omukolo.

Got2 220x290

Abafumbo batabuse ne baanika obuziina...

Abafumbo batabuse ne baanika obuziina bwabwe