TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nnamwandu wa Kasiwukira yeewozezzaako: 'Si nze natta baze'

Nnamwandu wa Kasiwukira yeewozezzaako: 'Si nze natta baze'

By Alice Namutebi

Added 6th September 2016

NNAMWANDU wa Eria Ssebunnya Bugembe Kasiwukira yeegaanye okutta bba n’agamba nti bamulange bwemage.

Yaka 703x422

Nabikolo ng'awanise Baibuli okukuba ekirayiro bwe yabadde atandika okwewozaako mu musango ogumuvunaanibwa okutta bba Kasiwukira. EKIF: ERIA LUYIMBAZI

NNAMWANDU wa Eria Ssebunnya Bugembe Kasiwukira  yeegaanye okutta bba n’agamba nti bamulange bwemage.

Sarah Nabikolo eggulo ku Mmande yabadde yeewozaako ku kkooti Enkulu n’agamba nti tasobola kutta mwami we kubanga ng’oggyeeko eky’okubeera mukwano gwe nfanfe, Kasiwukira ye taata w’abaana be era y’abadde amulabirira obulamu bwe bwonna.

Nabikolo yagambye nti yadde nga Kasiwukira yafunayo omukyala ow’okubiri, baasigala bakolagana kubanga yamwetondera era okulaga nti aboneredde, yamugulira emmotoka empya n’amuzimbira n’ennyumba kw’okomya amaaso e Muyenga.

Nabikolo yategeezezza omulamuzi Masalu Musene nti emyaka 30 gy’amaze ne Kasiwukira mu bufumbo  babadde  bannaddini nnyo nga tebasobola kukkiririza mu bya mayembe ng’abajulizi bwe bagamba era n’awakanya ebyagambibwa kkooti nti Kasiwukira yali aleese amayembe ewaka agaali gasaba okusaddaaka omu ku baana be nga kino kye kyamuviirako okufa.

Yagasseeko nti mu bulamu bwe, tafunangako kirowooza kya kutta bba era teyeekobanangako na muganda we, Sandra Nakungu n’owa poliisi, Jaden Ashiraf okutta Kasiwukira.

Kasiwukira yattibwa nga October 17, 2016 bwe yali akedde ku makya okukola dduyiro nga oludda oluwaabi lugamba nti mukazi we Sarah Nabikolo ye yaluka olukwe luno nga ayambibwako muganda Nakungu ne Jaden.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasibante2 220x290

Omubaka Kasibante atereezezza obufumbo...

MOSES Kasibante omubaka wa Lubaga North atereezezza amaka, bw’ayanjuddwa mu kitiibwa ku mukolo ogwetabiddwaako...

Jmcweb 220x290

Kyetume ekutudde JMC Hippos

Kyetume evudde emabega n'ewangula JMC Hippos mu Big League mu ddakiika ezisembayo

Joshuaweb 220x290

Cheptegei ataddewo likodi ng'awangula...

Joshua Cheptegei ataddewo likodi y'ensi yonna empya, ng'awangula kiromita 15 mu misinde gya 2018 NN Seven Hills...

2016manujoseshout1 220x290

Veron ayogedde lwaki ManU evumbeera...

Veron akubye ebituli mu kisanja kya Mourinho mu ManU.

Afcon16 220x290

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda...

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda mu AFCON2018 e Cameroon.