TOP
  • Home
  • Agawano
  • Enfa ya kansala w'e Mukono ekubye aba DP encukwe: Bagudde ku mulambo mu kazigo ke nga gunyookako ensowera

Enfa ya kansala w'e Mukono ekubye aba DP encukwe: Bagudde ku mulambo mu kazigo ke nga gunyookako ensowera

By Henry Nsubuga

Added 25th September 2016

Abawagizi b’ekibiina kya DP mu munisipaali y’e Mukono baaguddemu encukwe ku Lwomukaaga bwe baakedde okufuna amawulire g’omu ku bannaabwe abadde kansala ku lukiiko lwa Mukono Central divizoni.

Mknndagire 703x422

Kansala Regina Ndagire (26) abadde akiikirira ekitundu kya Gulu ward ye yasangiddwa mu nnyumba ye nga yafa ennaku nga 3 emabega. EKIF: HENRY NSUBUGA

Abawagizi b’ekibiina kya DP mu munisipaali y’e Mukono baaguddemu encukwe ku Lwomukaaga bwe baakedde okufuna amawulire g’omu ku bannaabwe abadde kansala ku lukiiko lwa Mukono Central divizoni.

Kansala Regina Ndagire (26) abadde akiikirira ekitundu kya Gulu ward ye yasangiddwa mu nnyumba ye nga yafa ennaku nga 3 emabega ng’ensowera ze zaabagulizza ku bantu ababeera okumpi naye.

Omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y’e Mukono, Maj. David Matovu  yategeezezza nti okusinziira embeera omulambo gwa Ndagire gye gwasangiddwamu yandiba nga yakubiddwa masannyalaze.

“Ennyumba ya Ndagira yabadde yagiggalira munda era twamenye mmeye, omulambo gwasangiddwa ku buliri ate nga omukono gukutte mu waya z’amasannyalaze nga n’okusiriira gusiridde ate ng’ebitundu by’omubiri ebirala byabadde tebirina buzibu bulala,” Matovu bwe yagambye.

RDC yasinzidde wano n’alabula abantu okwewala embeera eyinza okubakubisa amasannyalaze omuli okwebaka ng’essimu bagikutte ate bw’eri mu masannyalaze ku muliro, okuteeka obuzindaala mu matu nga babutadde mu ssimu, okwogerera ku ssimu nga bwe ziri mu masannyalaze n’embeera endala nnyingi.

Omwogezi wa DP mu munisipaali y’e Mukono, Kansala Peter Nsamba yagambye nti ku bikwata ku nfa ya Ndagire balinze ebbaluwa eyavudde mu bakugu mu ddwaliro e Mulago abeekebezze omulambo.

“Wadde mu kutunula okwangu kyabadde kiraga nga Ndagire yakubiddwa masannyalaze, tulinze ebbaluwa okuva ew’abasawo eraga kiki ekituufu ekyaviiriddeko enfa ya Ndagire,” Nsamba bwe yagambye.

Nsamba yetegeezezza nti Ndagire waakuziikibwa ku kyalo Wabikokooma-Naggalama mu ssaza ly’e Nakifuma ku ssaawa munaana ku Ssande.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa

Reb2 220x290

Atiisatiisa okusobya ku Basisita...

Atiisatiisa okusobya ku Basisita lwa ttaka

Lab 220x290

Looya alaze ekiyinza okumalawo...

Looya alaze ekiyinza okumalawo enkalu z’abagagga ku bizimbe ebikaayanirwa

Deb2 220x290

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero...

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero eryayidde e Rakai