TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi erabudde bannannyini loogi ng’abayizi badda ku masomero

Poliisi erabudde bannannyini loogi ng’abayizi badda ku masomero

By Joseph Makumbi

Added 26th September 2016

POLIISI erabudde bannannyini loogi ne wooteeri beegendereze abantu be basuza mu kiseera ng’abaana badda ku masomero nti gwe banaasanga ng’asuzizza bassedduvutto n’abayizi, agenda kukangavvulwa.

School1 703x422

Omuyizi nga yeetisse ebintu bye mu Kampala eggulo adda ku ssomero.

Bya JOSEPH MAKUMBI

POLIISI erabudde bannannyini loogi ne wooteeri beegendereze abantu be basuza mu kiseera ng’abaana badda ku masomero nti gwe banaasanga ng’asuzizza bassedduvutto n’abayizi, agenda kukangavvulwa.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Emilian Kayima yategeezezza nti, bassedduvutto bangi mu kiseera abayizi we baddira mu masomero abababuzaabuza ne babatega obusente n’okubasiiga endwadde.

Yagambye nti poliisi egenda kukola ekikwekweto era gwe banaakwata ng’alina omuyizi mu loogi oba wooteeri, ne nnyiniyo ajja kuggulwako emisango.

Mu ngeri y’emu, abazadde n’abasuubuzi balaze obwennyamivu olw’ebintu ebirinnye ebbeeyi. Robinah Nankya eyasangiddwa ng’azza omwana ku ssomero yagambye nti ebitabo, empapula, n’eby’essomero ebirala byeyongeddemu ssente era bingi tabiguze.

Abazadde abalala beemulugunyizza ku bintu ebingi amasomero bye gasaba nga n’ebimu abasomesa be babyesigaliza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...