TOP

Ekinnya ky’e Namuηηoona kyeraliikiriza abatuuze

By Benadino Kate

Added 27th September 2016

ABATUUZE b’e Namuηηoona ku luguudo lw’e Hoima beeraliikirivu olw’oluwonko olulidde ekkubo.

Enzito1 703x422

Oluwonko lw’e Namuηηoona.

ABATUUZE b’e Namuηηoona ku luguudo lw’e Hoima beeraliikirivu olw’oluwonko olulidde ekkubo.

Abantu abatambulira ku kkubo nga tebamanyi luwonko luno kyangu okuluggwamu Waliwo oluwonko oluli ku kkubo erigenda ku luzzi lwa Nabirye ne ku Bbawalakata.

Edward Luyima abeera ku Muvule Zooni, yategeezezza nti bamaze ebbanga nga balaajanira abakulembeze baabwe bazibe omwala kyokka nga tebafaayo.

Abantu basiiwuuse empisa, bwe balabye oluwonko luno ne basalawo okusuulamu kasasiro nga kati waliwo okutya nti abantu abaliraanyeewo bandirwala endwadde eziva ku bucaafu.

Ssentebe w’e Namuη− ηoona Zooni1, David Male yagambye nti, ekizibu ky’omwala guno kibeeraliikiriza era ne basaba be kikwatako okukisalira amagezi.

Yagambye nti balina n’obuzibu bw’enguudo okuli oluva ku Munaku akutuuka ku Nakibinge n’okugenda ku National Housing.

Moses Ssempa, Town Clerk w’e Lubaga yategeezezza nti ebifa ku kifo kino babimanyi era bagenda kutandika okulongoosa amakuba nga n’agamu bagenda kugasaamu koolaasi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Maaso 220x290

Abadde yaakayimbulwa bamuttidde...

OMU ku bamenyi b’amateeka aboolulango mu Kawempe abadde yakaligibwa emyaka esatu mu kkomera e Luzira oluyimbuddwa...

Laha 220x290

Baze ambuzeeko kati wiiki bbiri...

OMWAMI wange yambulako kati wiiki bbiri nga simulabako kyokka yandekera omwana omuto nga ne ssente sirina.

Ssenga1 220x290

Omukazi alabika yandoga obusajja...

OMUKAZI bw’aba nga yanzita obusajja, nsobola okufuna eddagala? Sirina manyi ga kisajja bulungi ate nga gaali mangi...

Pansa 220x290

Stecia Mayanja ddala muzito oba...

HAJATI Faridah Mubiru manya Stecia Mayanja owa Kream Production ennaku zino alina engeri gy’agezze ate nga ne Sharia...

Dvq8ouzwkaakba8 220x290

Awagidde eky’okusimbawo Museveni...

SSENTEBE w’amatabi ga NRM agali ebweru wa Uganda, Al Haji Abbey Walusimbi awagidde ekyasaliddwaawo akakiiko ak’oku...