TOP

Abaalemera mu mayumba ga poliisi babatutte tebalinnya

By Eria Luyimbazi

Added 1st October 2016

POLIISI ya CPS egobye abaserikale abaali baasindikibwa okukolera mu bitundu ebirala ababadde balemedde mu mayumba gaayo Ekikwekweto kino kyakulembeddwaamu DPC wa CPS, Joseph Gwayido Bakaleke oluvannyuma lw’okukizuula ng’abamu ku bantu ababadde basula mu mayumba agali emabega wa CPS bwe baagalemeddemu ng’ate waliwo abaserikale abaaleeteddwa abalina okugabeeramu.

Linya1 703x422

Abaserikale nga batwala omukazi eyabadde agaanidde mu nnyumba ya poliisi ku CPS.

POLIISI ya CPS egobye abaserikale abaali baasindikibwa okukolera mu bitundu ebirala ababadde balemedde mu mayumba gaayo Ekikwekweto kino kyakulembeddwaamu DPC wa CPS, Joseph Gwayido Bakaleke oluvannyuma lw’okukizuula ng’abamu ku bantu ababadde basula mu mayumba agali emabega wa CPS bwe baagalemeddemu ng’ate waliwo abaserikale abaaleeteddwa abalina okugabeeramu.

Bakaleke yagambye nti, waliwo abaserikale abaakyusibwa okuva ku CPS ne basindikibwa okukolera mu bitundu ebirala kyokka ne balekamu ebintu byabwe n’ab’omu maka gaabwe nabo kwe kubagobamu.

Yagambye nti waliwo n’abamu ababadde babeera mu bbalakisi eno nga tebamanyiddwa nga bakoleramu ebintu ebitakkirizibwa nga bonna bagobeddwaamu. Ate abagaanirawo baakuvunaanibwa.

Yategeezezza nti abaserikale abaaleeteddwa balina okusula ku poliisi kwennyini kuba balina okusitukiramu ssinga wabaawo ekibeetaagisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Liv1 220x290

Ssente za Pulezidenti zitabudde...

Ssente za Pulezidenti zitabudde aba taxi b’e Kamwokya.

Jip1 220x290

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi...

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi e Gulu

Mot2 220x290

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte...

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte ku by’okufera ssente

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda