TOP
  • Home
  • Agawano
  • Ababbi balumbye makanika ne bamulumako okutu

Ababbi balumbye makanika ne bamulumako okutu

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd October 2016

ABABBI baalumbye galagi e Mambule ne bakuba omukuumi ne bamulumako okutu n’okumutema mu maaso kyokka naye nanywezzako omu abalala ne badduka.

Lun 703x422

George Katamba gwe baalumyeko okutu

ABABBI baalumbye galagi e Mambule ne bakuba omukuumi ne bamulumako okutu n’okumutema mu maaso kyokka naye nanywezzako omu abalala ne badduka.

Ababbi okulumba ‘Family Garage’ esangibwa ku luguudo oluva ewa Mambule okudda e Bwaise kyabaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano.

George Katamba 45, omutuuze w’e Makerere zooni 3 makanika mu galagi eno yateegeezezza nti mu ku ssaawa nga mwenda ekiro ababbi abaabadde bakutte ebiso n’ebissi ebirala baawalampye ekikomera kya galagi ne bagwa munda ne batandika okumenya sitoowa omubeera ebyuma.

Wano nti we yayambalidde omu ku bo Frank Sekawata eyamulumye okutu banne ne badduka.

Yayongeddeko nti ekibinja kino kizze kibayingirira n’ekibba ebyuma ku mmotoka za bakasitoma nga kino kyatuusa abakuumi okugenda bamakanika n’ebeekolamu omulimu nga be beekumira galagi yaabwe eyakwatiddwa yagguddwaako omusango ku fayiro nnamba SD:05/09/30/2016.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kit1 220x290

Abagambibwa okutta Bayinvesita...

Abagambibwa okutta Bayinvesita bakwatiddwa abalala babataddeko obukadde 10

Kam2 220x290

Abagambibwa okusanga akawanga ka...

Abagambibwa okusanga akawanga ka maama waabwe mu ssabo beebazizza Museveni okubayamba

Tip2 220x290

Ssemaka yecanze n'azaalukuka omwana...

Ssemaka yecanze n'azaalukuka omwana we

Tot1 220x290

Vision Group etandise enteekateeka...

Vision Group etandise enteekateeka y'ekivvulu kya Toto

Jose11 220x290

Abaggyeemu obwesige

ManU, eri bubi nga mu Premier eri mu kifo kyamunaana nga Man City ekulembedde ebasinza obubonero 12.