TOP
  • Home
  • Agawano
  • Minisita Nakiwala agugumbudde abakola ku kuwola abavubuka ssente

Minisita Nakiwala agugumbudde abakola ku kuwola abavubuka ssente

By Paddy Bukenya

Added 3rd October 2016

MINISITA w’abavubuka n’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi agugumbudde abakola ku kuwola abavubuka olw’okulwawo okubawa ssente n’abawa ekiragiro kya butasukka wiiki nga bazibawadde.

Malawo1 703x422

Abavubuka nga bayaniriza minisita Kiyingi (ku kkono).

MINISITA w’abavubuka n’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi agugumbudde abakola ku kuwola abavubuka olw’okulwawo okubawa ssente n’abawa ekiragiro kya butasukka wiiki nga bazibawadde.

Nakiwala okutabukira abakola ku kuwola abavubuka ku mutendera gw’eggombolola, kiddiridde abakulembeze b’abavubuka e Mpigi okwemulugunya ku mitendera egiyitibwamu okwewola ssente zaabwe eza ‘Youth Livelihood’ nga bagamba nti babakandaaliriza ne beetamwa ne bazivaako.

Nakiwala abalagidde okukola ku bavubuka mu wiiki emu okuva lwe baba bataddeyo okusaba kwabwe.

Avumiridde n’abavubuka abasaba ssente zino nga bayita mu kwekalakaasa nti tekiraga bugunjufu n’abasaba bakikomye.

Yabyogeredde ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’abavubuka b’e Mpigi ogwabadde e Nkozi ku kisaawe.

Yasabye abakulembeze b’abavubuka okubeera ekyokulabirako eri bannaabwe nga beenyigira mu nkulaakulana nga okulunda, okulima ne SACCO gavumenti esobole okubakwatirako.

Yasoose kuggulawo ofiisi y’abavubuka ku kitebe kya disitulikiti we bagenda okukakkalabiza emirimu era ne yeeyama okugiteekamu ebikozesebwa byonna n’okugibeerangamu buli nga 30 buli mwezi.

Amyuka omubaka wa Gavumenti e Mpigi, Lillian Nakaweesi yagambye nti abavubuka be balina okunnyikiza enkola ya Pulezidenti eya “Kisanja akuna mucheezo” nga beenyigira mu nteekateeka za gavumenti n’okuzirondoola.

Eraso akola ku nteekateeka z’okugaba ssente z’abavubuka e Mpigi, yagambye nti omwaka guno tewali kibiina kyafunye ssente mu nteekateeka y’abavubuka ng’ate balina ensimbi ezisoba mu bukadde 400 ez’okugaba naye tebannazisaba.

N’agattako nti balina obuzibu bw’entambula nga balondoola ebibiina by’abavubuka n’asaba mininsita okubafunira emmotoka.

Kyokka yennyamidde ku bavubuka abaalya ssente zino nga baziyita akasiimo era nti ku bukadde 280 ze baagaba mu mwaka ogwasooka, baakakomyawo obukadde 15 bwokka!

Omubaka wa Mawokota South, John Bosco Lubyayi yagambye nti ekizibu ekisinga mu kitundu kye ky’abawala okufuna embuto nga bato n’asaba abazadde n’abakulembeze okubeera abasaale mu kulwanyisa ekizibu kino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.

Funa 220x290

Okukkiririza mu Katonda kizza laavu...

OMUWALA yenna kasita akula, kibeera kitegeeza nti alina obulamu bw’alina okuvaamu ate adde mu bulala ne gye biggweera...

Tuula 220x290

Mukwano gwange yansigulak

NZE Hakim Male nga mbeera Kireka Railway mu munisipaali y’e Kira. Siryerabira mukwano gwange gwe nali mpita owange...

Funayo1 220x290

Omuyizi alumirizza omusajja okumuwamba...

POLIISI y’e Matugga ekutte n’eggalira omusajja agambibwa okutaayizza omuyizi abadde agenda ku ssomero n’amuwamba...

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...