TOP
  • Home
  • Agawano
  • Kkooti kyaddaaki egattuludde sipiika Oulanya ne mukazi we

Kkooti kyaddaaki egattuludde sipiika Oulanya ne mukazi we

By Alice Namutebi

Added 3rd October 2016

KKOOTI kyaddaaki esazizzaamu obufumbo bw’omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya ne mukyala we Winne Amoo gw'alinamu abaana babiri.

20159largeimg229sep2015122936727703422 703x422

KKOOTI kyaddaaki esazizzaamu obufumbo bw’omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya ne mukyala we Winne Amoo gw'alinamu abaana babiri.

Oulanya alagiddwa okuwa Amoo buli mwezi ssente obukadde 2 ez’okulabirira abaana mu bintu ebyenjawulo nga ssente waakuziteeka ku akawunti gye bagenda okuggulawo mu America abaana gye babeera ne nnyaabwe era n'alagirwa okutegeeza ku Amoo buli lw'anaaba ayagala okulaba ku baana be.

Omulamuzi Alexandria Nkoge, y'agattuludde Oulanya ne mukyala we Amoo n'alagira abaana basigale ne nnyabwe mu America naye nga Amoo alina okutegeeza ku kitaabwe enkyukakyuka zonna ezikolebwa mu ssomero kimusobozese okubakyalira w'aba ayagalidde.

Oulanya ne Amoo baagattibwa Ssaabalabirizi w'Ekkanisa ya Uganda, Stanley Ntagali ku All Saints Cathedral e Nakasero ku mukolo ogwateekebwamu obuwanana bw'ensimbi.

Wabula oluvannyuma lw’emyaka ebiri, baafuna obutakkaanya Oulanya n'asaba kkooti ebagattulule ne Amoo gwe yali avunaana okulekulira obuvunaanyizibwa bwe nga omukyala omufumbo n'agenda mu America.

Kyokka ne Amoo teyawakanya kya kumugattulula ne bba n'agamba nti abadde talabirira baana ate ng'amukaka okwambala engoye za mukyala we omugenzi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bi 220x290

Bebe Cool agenze mu Amerika kusakira...

Bebe Cool agenze mu lukung’ana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) kusakira balwadde bakafuba ssente za bujjanjabi....

Abasuubuzingabalimukatalekakirekamainmarketwebusebig 220x290

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo...

Akatale ka myaka 90 wabula tekalina mifulejje wadde bakasitoma we bayita.

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?