TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Wuuno nkubakyeyo eyeepikira okumenyawo Winnie Nwagi

Wuuno nkubakyeyo eyeepikira okumenyawo Winnie Nwagi

By Musasi wa Bukedde

Added 6th October 2016

DIZAYINA era nkubakyeyo w’e Sausi ηηamba South Afrika, Vanesh Nannyonjo yeepikira kumenyawo Winnie Nwagi ow’amafi ga wamu n’eddoboozi ery’ennyonza.

Jangu1 703x422

DIZAYINA era nkubakyeyo w’e Sausi ηηamba South Afrika, Vanesh Nannyonjo yeepikira kumenyawo Winnie Nwagi ow’amafi ga wamu n’eddoboozi ery’ennyonza.

Nannyonjo eyeeyita ‘’Queen Monster’’ ku siteegi yafulumizza oluyimba lwe yatuumye ‘‘Fire, guyite omuliro’’ olukutte akati ku ttivvi z’e South Afrika.

Abeera awaana omusajja eyamutwala omutima nga buli lw’amulabako alebera omubiri yenna nga yeebuuza kiki omusajja kye yamukola. Agamba nti omukwano gw’abaagalana bwe gubanyumira gubanga omuliro nga buli omu bw’asembera awali munne asaanuuka.

Ate laavu bw’ogigattamu okulya ku ssente nga muyitako mu kidongo kisukka kubanga buli lwe muvaayo musibira mu kitanda kwesanyusaamu.

Yategeezezza nti guno omuliro gw’agenda okukozesa okwokya abayimbi ababaddewo mu Uganda okuli ne Desire Luzinda ow’ekitone naye alinnye ku ntikko. Nannyonjo mutunzi wa misono.

Alina abaana babiri wabula ennaku zino akukuta ne Wayne Vibes ayimbira mu kibiina kya Team Good Guys nga n’ekigendererwa kye ekikulu kya kumuyambako ku sitayiro y’emiziki gy’omu Uganda okusobola okuvuganya obulungi.

Yategeezezza nti newankubadde talina mafi ga nga aga Winnie Nwagi ne Desire Luzinda, alina ekitone ky’okuyimba ky’ayagala okukuza.

Mu South Afrika amazeeyo emyaka mukaaga ng’akolagana n’abamu ku bayimbi abaatendekebwako omugenzi Lucky Dube ne Yvonne Chaka Chaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup