TOP

Gen. Kale Kayihura asisinkanye owa Rwanda

By Ali Wasswa

Added 22nd October 2016

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura alaze obutali bumativu olw’engeri ebyokwerinda n’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka gye bikwatiddwaamu mu Afrika n’agamba nti kino kye kiuvuddeko obumenyi bw’amateeka okweyongera.

Kayihura 703x422

Kayihura ( ku ddyo) ng’ali ne Gasana ow’e Rwanda.

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura alaze obutali bumativu olw’engeri ebyokwerinda n’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka gye bikwatiddwaamu mu Afrika n’agamba nti kino kye kiuvuddeko obumenyi bw’amateeka okweyongera.

Gen. Kayihura eyabadde ku Lake View Hotel e Mbarara ku Lwokuna yagambye nti “ twetaaga okwongera amaanyi mu kulwanyisa obumenyi bw’amateeka kuba buli olukya bukyuka olwa tekinologiya ayongera okukula nga abalwanyisa obumenyi bw’amateeka balina okutendekebwa mu ngeri ey’enjawulo”.

Yabadde asisinkanye omuduumizi wa poliisi y’e Rwanda, Emmanuel Gasana n’amutegeeza nti bagezezzaako okulaba ng’abamenyi b’amateeka tebeeyambisa ggwanga lyabwe era ng’abeera azizza omusango bamuzzaayo gy’aguddizza n’avunaanibwa.

Gasana yasiimye enkolagana gye balina ne Uganda n’agamba nti eyambye okunyweza omukago wakati w’ebitongole byokwerinda ku njuyi zombi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo