TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Agambibwa okubba pikipiki asimattuse okugajambulwa ab'oku Kaleerwe

Agambibwa okubba pikipiki asimattuse okugajambulwa ab'oku Kaleerwe

By Musasi wa Bukedde

Added 26th October 2016

OMUSAJJA agambibwa okubba pikipiki asimattuse okuttibwa abavuzi ba bodaboda ku siteegi y’oku Kalerwe oluvannyuma lw’okusangibwa ne Bajaj UEC G64F gye balumirizza nti yagibba ku munnaabwe.

Abudallahkayongoagambibwaokubbapiki6 703x422

Abdullah Kayongo, agambiibwa okubba pikipiki ya John Bosco Kakumba ng'ali ku mpingu. Ku ddyo ye pikipiki eyakwatiddwa. EBIF: REGINAH NALUNGA

Bya REGINAH NALUNGA

OMUSAJJA agambibwa okubba  pikipiki asimattuse okuttibwa abavuzi ba bodaboda  ku siteegi y’oku Kalerwe oluvannyuma lw’okusangibwa ne  Bajaj UEC G64F gye balumirizza nti yagibba ku munnaabwe.

Abdullah Kayongo,  omutuuze  w’e Kazinga - Nabweru South  ye yasangiddwa ne pikipiki eyabbibwa  ku John Bosco Kakumba, akolera ku siteegi e Kanyanya.

Kukumba okubbibwako piki ya mukama we yali atutte abasajja babiri  ku ssaawa 8 ez’ekiro nga bano olwatuuka e Kawempe ku luguudo lw’e Tula, abasaabaze ne bamuggyirayo ekis ne bakimussa ku bulago nga bwe bamugamba nti ku bulamu ne piki londawo kimu, n’abalekera pikipiki okutaasa obulamu, kyokka enkeera n’aloopa omusango ku Poliisi y’e Kanyanya.

 bantu nga beetegereza pikipiki egambibwa okubbibwa ku akumba Abantu nga beetegereza pikipiki egambibwa okubbibwa ku Kakumba.

Kayongo agambibwa okugibba okukwatibwa yasangidwa omu baludde nga banoonya piki eno, yasangiddwa ng’agivugira ku nkulungo y’oku Kalerwe  n’akwatibwa n’atwalibwa ku Poliisi y’e Kanyanya okubitebya.

Oluvannyuma lwa Kayongo ne Kakumba okulemererwa okukkaanya ku ani nnannyini pikipiki omutuufu, Poliisi yabasindise mu ofiisi za URAokubayambako okuzuula ekituufu.

Omusango guli ku fayiro nnamba SD:REF 02/10/06/2016.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...