TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannamakolero e Jinja balaajanye olw'emisolo ejibaggyibwako

Bannamakolero e Jinja balaajanye olw'emisolo ejibaggyibwako

By Musasi wa Bukedde

Added 4th November 2016

Bannamakolero e Jinja balaajanye olw'emisolo ejibaggyibwako

Bay1 703x422

Bannamakolero mu Njeru Town Council nga bannyonnyola akulira ekibiina ky'abannamakolero embeero mwe bakolera

Bannamakolero mu districts okuli Jinja ne Buikwe bawanjagidde Gavumenti okubayamba ku buzibu bye balina ebituuse okubalemesa amakolero n’abamu okudduka mu ggwanga.

Ng’oggyeko okubaggyako emisolo emingi ku bikozesebwa, bano bakaaba ebyamaguzi ebiva ebweru w’eggwanga ebivuganya ebyabwe ssaako emisolo emingi egibaggyibwako mu bitundu ewali amakolero gaabwe.

Ba Yinvesita bino babitegeezezza abakulira ekibiinba ekigatta bannamakolera mu ggwanga ababadde bage nze okulambula bannamakolero engeri gye batambuzaamu emirimu gyabwe mu kibuga kye Jinja

Bwe babadde boogerako n'akulira ekibiina ekigatta bannamakolero Ssebaggala Kigozi, bamuloopedde embeera gye bayitamu okukola emirimu gyabwe omuli emisolo emingi ennyo ssaako n'okuvuganya n'ebintu ebiva ebweri.

 

 Bayinvesita abalina amakolero gaabwe  mu Buikwe bagamba nti basulirira kuggalawo bizinensi olw'emisolo egibagerekwbwa ku bizimbe egiyitibwa Property taxoguli wakati w'obukadde  50-58 okwo ssako ogwa trading licence nga babasaba obukadde 30 buli mwaka.

“Tubadde tusasula obukadde 10 ng’omusolo mu Njeru town council wabula kati batugambye tusasule obukadde 30, tugezezaako okubabuuza engeri gyebagerekamu omusolo guno wabula tebatufuddeeko. Kino kitunyigiriza kubanga ensimbi nyinji nnyo zino” Kashyap Patel akulira ekkolero lya Paramukh steels bwe yategezezza.

Wabula bw’abadde ayanukula okukaaba kw’abantu bano, akulira UMA Ssebaggala Kigozi abagumizza nga bwe bagenda okwogereganya ne Njeru town council okulaba engeri gyebayinza okukendeeza ku misolo egitulugunya ba yinvesita.

Ku nsonga y’ebyamaguzi ebiva ebweru w’egganga ne bivuganya ebyakuno, Ssebaggala agamba nti bakitesaako dda n’omukulembeze w’eggwanga babyongereko emisolo kibifuule bya bbeeyi bw’ogerageranya n’ebyakuno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana

Hat1 220x290

Ebivuddeko ettemu okweyongera

Ebivuddeko ettemu okweyongera