TOP

Abooluganda basse mukulu waabwe lwa ttaka

By Musasi wa Bukedde

Added 8th November 2016

Poliisi mu disitulikiti y’e Mayuge ekutte abeganda basatu nebagalira mukadukulu oluvannyuma olwokutta muganda wabwe owemyaka 45 nga bamulanga kwezza ttaka ly’ekika.

Kaziba1 703x422

Abooluganda Zekeli Kaziba, Tomath Kaziba ne Yowana Kaziba abaakwatidwa ku byokutemulwa kwa mukulu waabwe. Ekif.David Kibuuka

Bya DAVID KIBUUKA  

Poliisi mu disitulikiti y’e Mayuge ekutte abeganda basatu nebagalira mukadukulu oluvannyuma olwokutta muganda wabwe owemyaka 45 nga bamulanga kwezza ttaka ly’ekika.  

Abakwatiddwa kuliko omu ategerekese nga Zekeli Kaziba 41,Tomath Kaziba 39 nomulala Yokana Kaziba Yaledi 44 nga bonna batuuze ku kyalo kye Bugumya mu ggombolola lye Bukabooli mu disitulikiti y’eMayuge.

 Bano bateberezebwa okuba nti basse muganda awabwe abadde nga amanyikiddwa nga David Kaziba abadde omukulu w’essomero lya Matovu Foundation Nursery and primary school.  

Omwogezi owa poliisi mu Busoga East James Mubi agamba nti ensonga eyasizza Kaziba yeekuusa ku  ttaka kubanga babadde nga bamaze ebanga eriwera nga bakayanira ettaka lino ng’era babadde nga bamutiisatisa okumutta okutuusa webakyitukirizza.  

Mubi agamba nti kitaawe w’omugenzi ono alina abakyala babiri wabula abaana aba maama we omuto bebateberezebwa okuba nti bamusse kubanga baludde nga balina embiranye naye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana