TOP

Besigye alemeseddwa okugenda e South Africa

By samuel tebuseeke

Added 8th November 2016

Dr.Kizza Besigye eyavuganyako ku bwa pulesidenti akukulumidde nnyo poliisi ya Uganda okumugaana okuva e wakaawe okugenda e South Africa.

Besigyesent1 703x422

Besigye ng'ayogerako eri Bannamawulire oluvanyuma lwa poliisi okumulemesa okugenda e South Africa.

Bya Samuel Tebuseeke  

Dr.Kizza Besigye eyavuganyako ku bwa pulesidenti akukulumidde nnyo poliisi ya Uganda okumugaana okuva e wakaawe okugenda e South Africa.

Besigye ategeezeza Bukedde nti yabadde akeddennyo okumakya galeero (Lwa kubbiri)saawa kkumineemu nekitundu ku makya nga ali mu mottoka ye naye Robert Kachumu DPC we Kasangati namusulira emisavu ku geeti nga mugaana okufuluma nti babadde tebamanyi gyalaga.

Besigye agambye nti abadde agenda ku kisaawe Kyeggwanga ettebe alinye ennyo nyi e mutwale Kenya gyabadde agenda okufunira ennyonyi eddala emutwale mukibuga Dabani e South Africa gyabadde e genda okwetaba mu lukungaana lwa bannamateeka oluyitibwa International Commission of Jurists.

 Kino kimuyisiza bubbi kubanga ennyonyi mwabadde egenda okugedera yabadde yakusimbula ku saawa ssatu ku makya era yamulese naye yagambye nti asobodde okwogera nekitongole kye byenyonyi Entebbe alabe nga afuna ennyonyi eddala agende.  

Avumiridde nnyo ebikolwa bya poliisi bino nagamba nti kino bigenda kuletera bannayuganda okwekyaawa batandike okubeera nga tebakyakiririza mu mateeka ga poliisi ya Uganda, agambye nti poliisi emusosokereza erabika erina ekigendererwa okumujja mu mbeera abakolere ekikyaamu atebamuguleko emisango ate nga ye simuzi wa misango.  

Wabula oluvannyuma lw’okumulemesa okugenda okulinnya ennyonyi abasirikale basitudde ebyuuma byabwe ne bagenda era kati tewali musirikale yenna maka ga Besigye.

Laba wano bwebibadde mu bifaananyi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana