BYA EMMANUEL BALUKUSA NE DONALD KIIRYA
ABALWADDE mu dwaliro lya Bugembe health center iv mu Bugembe tawuni kanso mu disitulikiti ye Jinja bakaaba olwobukyafu obuyitiridde mu ddwaliro lino.
Abalwadde bategezeza nga bwe batakyayagala ku ddukira mu dwaliro lino kubanga babera bagenze kufuna bujanjabi wabula babukayo nabirwadde ebiva ku bukyafu era nga kati basobeddwa eka nemukibira.
Abalwadde bategezeza ng'abasawo n'abakulira eddwaliro lino bwe bafuddeyo enyo kukyokukuma waadi ezijanjabirwamu nga nyonjo wabula ate wa bweru webizimbe nolujja bwe bikyabalemye okutereza era nga bwotuka kuddwaliro lino ensiiko yekwaniliza.
Eddwaliro lijanjaba abalwadde abawerera ddala 250 buli lunaku era nga bava mu bitundu okuli ;Busedde,Mpambwa,Kakira Mafubira,Magamaga,Kagoma, Iganga,Bugembe n'ebilala.
