TOP

Zigoti afudde baakamubba obuwumbi 2

By Ahmed Mukiibi

Added 1st December 2016

OMUGAGGA Enock Kisuule Kato amanyiddwa ennyo nga ZIGOTI afudde nga waakayita emyezi ebiri ng’abafere bamubbye obuwumbi bubiri (2,00,000,000/-) be ddu.

Zigoti2 703x422

Zigoti (ku ddyo) bwe yali mu kuziika Haji Kifampa e Bulamu mu disitulikiti y’e Mityana. Owookubiri ku ddyo ye minisita Kiwanda.

Bya Ahmed Mukiibi, Kizito Musoke ne Luke Kagiri

OMUGAGGA Enock Kisuule Kato amanyiddwa ennyo nga ZIGOTI afudde nga waakayita emyezi ebiri ng’abafere bamubbye obuwumbi bubiri (2,00,000,000/-) be ddu.

Amawulire g’okufa kw’omugagga Kato, nnannyini kkampuni ya Zigoti Coffee Works Ltd (ZICOFE) ng’abadde mukiise wa Busujju mu lukiiko lwa Buganda, gaalangiriddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, eyategeezezza nti Buganda efiiriddwa omusajja enkwatangabo, omukozi era omwagazi w’Obwakabaka.

E Mityana, Zigoti gy’alina wooteeri ey’ebbeeyi eyitibwa ENRO, nga y’esinga obunene mu kibuga ekyo era ng’alinayo n’ebizimbe ebirala, amawulire g’okufa gaasannyalazza abantu bangi naddala abasuubuzi ne bannabyabufuzi.

Kato yafiiridde Buyindi gy’abadde yatwalibwa okujjanjabwa omwezi nga gumu oguyise bwe yalumbibwa obulwadde obw’entunnunsi n’endwadde endala ez’okumukumu oluvannyuma lw’okuferwa obutitimbe bwa ssente.

 kimu ku bizimbe bya igoti okuli bbanka e ityana Ekimu ku bizimbe bya Zigoti okuli bbanka e Mityana.

 

Ensonda mu famire ye zaategeezezza nti Kato yafudde bulwadde bwa Kkansa ow’omu mimiro, wabula omu ku bawala be eyasabye amannya ge okusirikirwa yategeezezza nti okuva abafere lwe baafera kitaawe, embeera teddangamu kutereera, kubanga endwadde zeesomba nnyingi nnyo nga mu malwaliro gye bamutwala abasawo basemba bamwongereyo kubanga omutima gwe gwali gukuba bubi nnyo, kwe kumuddusa mu Buyindi mu bakugu ab’emitima.

W’afiiridde ng’omusango gwe yaloopa abafere Edward Muwawu Ddumba ne Geoffrey Sseggayi mu kkooti ey’ebyobusuubuzi ku ntandikwa ya October tegunnasalwa.

Mu musango guno, Kato yaloopa abafere Muwawu ne Sseggayi nti nga bakozesa ebiwandiiko ebijingirire n’olukwesikwesi baamubba obuwumbi bubiri.

Kigambibwa nti Muwawu, kkooti gwe yasingisaako omusango ogw’okufera omuzungu enzaalwa ya Budaaki Jespersen Carseten ensimbi akawumbi kamu n’obukadde 600, yasooka kusomera omugagga Kato ddiiru ya ddoola obukadde 12 (mu ssente za Uganda obuwumbi 40 n’obukadde 800) n’abuguma.

Ddiiru yali ya kuguza ekibiina ky’amawanga amagatte ekya United Nations Development Capital Fund (UNDCF) emmwaanyi ezibalirirwamu doola obukadde 12.

Muwawu ne Sseggayi baamatiza omugagga Kato nti kyenkana ddiiru yali ekutuse nga kyetaagisa ssente obuwumbi bubiri ez’okuwa Abazungu ab’ekitongole kya UNDCF okugikakasa era baamulaga n’ebiwandiiko byonna ebya Kontulakiti, n’ayitika.

Okusobola okumumatiza obulungi, abafere baamutega Abazungu abagambibwa nti bakungu ba UNDCF nga baali Nairobi mu Kenya era kigambibwa nti Zigoti yabasindikira ttiimu ye ne bakutula ddiiru.

Bwe yakitegeeza nti bamubbye, omugagga Kato yagwawo n’ekigwo, n’addukira mu b’obuyinza okugezaako okunoonya Muwawu amuddize ssente za bandi kyokka nga buteerere okutuusa lwe yatwala omusango mu kkooti wabula atuuse kufa nga Muwawu akyaliira ku nsiko.

Ekyasinga okutabula Zigoti, ze ssente ze yeewola mu bammanerenda ku magoba aga waggulu n’asingayo ebyapa by’ebimu ku bizimbe bye era bwe yakitegeera nti bamufeze, obulwadde ne buttuka.  

KATO ZIGOTI Y’ANI?

  • Enock Kato, ye mutandisi wa Kkampuni ya Zigoti Coffee Works Ltd (ZICOFE) eyacaaka ennyo mu myaka gya 1990 mu kugula, okusunsula n’okutunda emmwaanyi mu bitundu by’e Mityana ne Mubende. 
  • Musomesa wa pulayimale omutendeke.
  • Y’abadde ssentebe wa NRM mu disitulikiti ye Mityana okuva mu 2009 okutuuka w’afiiridde. Okufuuka ssentebe wa NRM yadda mu bigere bya kati omulamuzi Augustine Nshimye Sebuturo, eyali alondeddwa ku bulamuzi.
  • Y’abadde nnannyini wooteeri ya ENRO esinga obunene mu kibuga Mityana, era ng’alinamu n’ebizimbe ebirala okuli Kato Investment ne Annex.
  • Kato y’abadde egenti ya kkampuni ya Nile Breweries okutandikira e Bulenga ku lw’e Mityana nga y’amutunda okutuukira ddala e Kagadi.
  • Yaliko minisita omubeezi ow’ebyobusuubuzi n’obwegassi mu gavumenti ya Ssaabasajja e Mmengo. l Abadde mukiise mu lukiiko lwa Buganda okutuusa w’afiiridde. l Abadde muwi w’amagezi owa Kabaka ku nsonga ez’Ebyobusuubuzi.
  • Alina kkampuni ekola enguudo emanyiddwa nga Kato Investment ekola mu disitulikiti ez’enjawulo.
  • Alese bannamwandu n’abaana.
  • Abadde munnabyabufuzi Nnaamwatulira era nga bw’abeerako omuntu gw’atakkiriziganya naye akimugambirawo. Mu kulonda okwayita yali tawagira Sylivia Namabidde (mukazi/Mityana) n’eyali minisita Vicent Nyanzi (Busujju) era okulonda kwafundikira bagudde.
  • Olwokuba abadde Nnaamwatulira abamu nga batuuka n’okugamba nti aduula, era olumu yagamba nti, “bannange mukole ebibiina gavumenti ebawole. Naddala mmwe abatali bagagga nga Kato. Omanyi abamu bwe ngamba nti ndi mugagga nga bagamba nti nduula, kyokka bwe mba siriiwo bampita omugagga Kato.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga