TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekika ky’emmundu eyasse bba wa maama Fiina kizuuliddwa

Ekika ky’emmundu eyasse bba wa maama Fiina kizuuliddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd December 2016

Poliisi ezudde obujulizi ku bantu musanvu abateeberezebwa okwenyigira mu ttemu lino ssaako n’ebika by’emmundu ze baakozesa okumutta.

Mamafinakiggundu1 703x422

Maama Fiina ne bba omugenzi Kiggundu.

Bya Musasi waffe

OKUNOONYEREZA ku ngeri Maj. Mohammad Kiggundu, bba wa Maama Fiina gye yatemuddwa kweyongera amaanyi buli olukya.

Poliisi ezudde obujulizi ku bantu musanvu abateeberezebwa okwenyigira mu ttemu lino ssaako n’ebika by’emmundu ze baakozesa okumutta.

Ensonda okuva mu bambega zitutegeezezza nti oluvannyuma lw’okulonda ebisosonkole omwava amasasi ebiwera 58 mu kifo we baatemulidde Maj. Kiggundu n’omukuumi we Sgt. Steven Mukasa, baabitutte mu kyuma ekyekebejja amasasi ne bazuula nti byava mu bika bya mmundu bbiri okuli eya AK47 ssaako ne ‘UZI Gun’.

Ku ludda Maj. Kiggundu gye yawagamira mu luwonko, baalonzeewo ebisosonkole 27 ate ku ludda lw’omukuumi ku mabbali g’emmotoka ne balondawo 31.

Mu kwetegereza, baazudde nti emmundu ekika kya AK47 baagikozesa kukuba mipiira gya mmotoka egy’emabega ne mu maaso n’egwa mu luwonko, endabirwamu y’omu maaso, okukuba mu bbanga okusaggula ekkubo nga badduka ssaako n’okutemula Mukasa.

Ensonda mu byokwerinda zongera okutegeeza nti abatemu beeyawulamu ng’abamu bakozesa AK47 ate abalala UZI Gun era omulimu gw’abaalina UZI gun kwali kukuba Kiggundu okumusaanyawo era bwe yava mu mmotoka ng’awanise emikono, baatandika okumwokya amasasi okutuusa lwe yagwa ne basigala nga bagamufukirira.

Kino bakiggya ku kuba nti ebituli ebyasangiddwa ku mubiri gw’omugenzi bigazi ddala ku ludda olumu era bye bisingako obungi olwo ne bategeera nti amasasi agaakola ebituli ebyo gaava mu mmundu ekika kya UZI Gun.

Ebitonotono ku kika ky’emmundu UZI Gun

 mmundu ekika kya zi un Emmundu ekika kya Uzi Gun.

 


  • Uzi gun, mmundu nkola ya Bayisirayiri.
  • Eri ku lukalala lw’emmundu 10 zi mutasubwa ez’omukono ezisinga okwesigika mu nsi yonna era ezettanirwa ennyo abatemu n’abantu abali ku misoni ez’ekyama.
  • Yabbulwa mu musajja enzaalwa ya Yisirayiri, Major Uziel Gal eyagiyiiya mu myaka gya 1940.
  • Maj. Uziel Gal yamala emyaka ng’etaano ng’atetenkanya emmundu eno ng’akola dizayini ne kalonda omulala agiri munda n’agiggyako engalo mu 1950.
  • Amagye ga Yisirayiri gaamala emyaka ena nga gagigezesa n’okwekenneenya okutuusa mu 1954 lwe gaagimatira n’etongozebwa ng’ekimu ku byokulwanyisa bya Yisirayiri n’eweebwa erinnya Uzi.
  • Okuva mu 1954, lwe yatongozebwa, Yisirayiri yaakawa olukusa ensi ezisoba mu 90 okukola Uzi gun.
  • Wakati wa 1960 ne 1980, Uzi y’emmundu entono eyasinga okutundibwa ku katale k’emmundu. l Uzi ezisoba mu bukadde 10 ze zigambibwa okubeera mu nsi yonna omuli ne Uganda.
  • Ekibinja ky’abakuumi ba Pulezidenti wa Amerika ekya United States Secret Service baakozesanga Uzi ng’emmundu esookerwako okuva mu 1960 okutuuka mu 1990 lwe baazikaddiya ne batandika okukozesa Heckler & Koch MP5 ne FN P90.
  • Mu March 1980 abatemu lwe beegeza mu kutta Pulezidenti Ronald Reagan, aba Secret Service baakozesa Uzi gun okumutaasa.
  • Amagye agakuuma Pulezidenti Museveni aga SFC galina Uzi gun mu bungi l Bw’eba ejjudde amasasi, ezitowa kkiro ssatu n’ekitundu.
  • Eriko obuwanvu bwa Yinsi 18.5. l Uzi gun ezimu ziriko ekiti wabula ezinga obungi teziriiko kiti.
  • Efulumya amasasi 600 mu ddakiika emu, ekitegeeza nti buli sikonda, efulumya amasasi 10.
  • Esobola okukuba bulungi ttageti mu mmita 200.
  • Magaziini zaayo zaawukana mu bunene nga ziva mu masasi 20 okutuuka ku masasi 50.
  • Essasi lyayo limpi ate ggazi y’ensonga lwaki bwe likuba omuntu, ekituli we lifulumira kibeera kinene era lisesebbula nnyo we likubye okusinga ku ssasi lya AK 47.

 

Banoonyereza ku binkumu

Emmotoka y’amagye Maj. Kiggundu mwe yali atambulira, Pick Up double Cabin nnamba D03DF071 bwe yamaze okutwalibwa abakugu mu kitongole kya poliisi ekyekebejja ebintu eby’enjawulo (Forensic) e Naggulu okwongera okukungaanya obujulizi, bambega baagenze mu maaso n’okusitula ebinkumu naddala ku nzigi zaayo kuba abatemu baaziggulawo ne baggyamu ensawo eyalimu ne bagenda nayo.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Andrew Felix Kaweesi yagambye nti mu kunoonyereza okukolebwa, poliisi etunuulidde ebintu ebiwerako ng’amasimu gonna agaali gakubirwa Maj. Kiggundu wamu n’ebintu ebirala bye bategeka okukolera mu kyama okwewala okutaataaganyizibwa.

Bambega ku Muzikiti e Nakasero ne William

Ensonda okuva ku kitebe ekinoonyereza ekya CID zaategeezezza nti oluvannyuma lw’okukunya Sheikh Yahaya Mwanje eyakwatiddwa ne bamusibira e Nalufenya, batandise okufuna empulizo eziyinza okubatuusa ku batemu abaatemudde Maj. Kiggundu ku Lwomukaaga e Masanafu.

Ebimu ku bizuuliddwa ge mawulire agagamba nti waliwo abantu musanvu abaaluka olukwe luno nga ku bano kuliko abaserikale abaaliko mu kitongole kya Wembley basatu ssaako ne Bamasheikh ab’amaanyi wano mu Kampala bana.

Mu kiseera kino, poliisi yasindise dda bambega baayo ku mizikiti okuli ogw’e Nakasero ne William okutandika okutambulira ku bamu ku Basiraamu abasaalirawo n’okuwummulirawo nga balowooza nti bayinza okutuuka ku kituufu. Maj.

Kiggundu yattiddwa ku makya g’Olwomukaaga bwe yabadde agenda ku leediyo ya Pearl FM.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sky2 220x290

URA eggaddewo SkyLight Arcade abasuubuzi...

WAABADDEWO akassattiro mu kibuga abasuubuzi abakolera ku kizimbe kya Sky Light Arcade bwe baasanze ng'amaduuka...

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.