TOP

Abakulembeze bakungubagidde Kato Zigoti

By Joseph Makumbi

Added 2nd December 2016

Esther Ndyanabo Meeya wa Mityana Munisipalite yategeezezza nti Zigoti y’omu ku bantu abazimbye Mityana Munisipaali n’okutuuka okusuumusibwa n’eva mu Town Council okufuuka Munisipaali.

Katozigoti1 703x422

Zigoti lwe yagattibwa ne mukyala we mu bufumbo Obutukuvu.

Bya Joseph Makumbi

ABAKULEMBEZE b’e Mityana bakungubagidde Enock Kisuule Kato ‘Zigoti’ ne bategeeza nti abadde mumuli gwa nkulaakulana e Mityana ate muzzanganda mu byobubufuzi.

Zigoti y’abadde ssentebe wa NRM e Mityana kyokka ng’akolagana n’abebibiina ebirala DP, FDC ne UPC. Yakola nnyo okulaba nga NRM ewangula ebifo ebisinga mu Mityana.

Henry Kamya Makumbi omubaka wa Mityana South era nga y’abadde amyuka Zigoti ku bwassentebe bwa NRM e Mityana yagambye nti, Mityana bafiiriddwa nnyo.

Yagambye nti, Zigoti abadde ayagazisa abalala okukola era y’abadde ensibuko y’enkulaakulana e Mityana.

“Y’abadde atukumaakuma mu NRM nga bwe tuba n’olukiiko, y’atambuza abantu n’okubaliisa ate nga ne ofiisi z’ekibiina y’asasula.” Makumbi bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti, abatuuze b’e Mityana eggulo baatuuzizza olukiiko ku wooteeri ye eya Enro Hotel okuteesa ku ngeri gye bagenda okuwerekeramu Zigoti ku Ssande.

Fred Wotonava ssentebe wa Central Division; Yagambye nti Zigoti tabadde na mutima ogw’obutayagaliza n’ategeeza nti abadde ayigiriza abantu okukola n’okusuubula. Yagambye nti abadde agatta abantu b’e Mityana ku bagagga ab’amaanyi mu Uganda n’ebweru wa Uganda Bannayuganda gye basuubula n’agattako nti abadde musomesa waabwe mu disitulikiti kubanga gye yasomera era alinayo n’essomero.

“Abadde tasuulirira Bwakabaka bwa Buganda ate nga agatta bannabyabufuzi bonna nga tasosola mu bibiina.

Abadde awa abantu baffe emirimu mu wooteeri ne bizinensize endala era tufiiriddwa nnyo”, Wotonnava bwe yategeezezza.

Yagambye nti erinnya lye, lye babadde bakozesa mu bifo eby’enjawulo nga balina kye beetaaga nga n’emirundi egisinga, nga y’abasemba bwe baba balina ofiisi oba abanene be beetaaga okusisinkana.

“Abadde munnamakolero era y’abadde ssentebe wa bannamakolero mu Mityana katusabe Katonda omwoyo gwe agulamuze kisa”, bwe yagasseeko.

Esther Ndyanabo Meeya wa Mityana Munisipalite yategeezezza nti Zigoti y’omu ku bantu abazimbye Mityana Munisipaali n’okutuuka okusuumusibwa n’eva mu Town Council okufuuka Munisipaali.

Abadde yeebuuzibwako ku nsonga z’ekitundu”, Ndyanabo bwe yategeezezza.

Charles Sserugga Matovu ‘Munnakyalo’ wa NRM e Mityana; “Zigoti abadde nnamwatulira nga bw’akugamba nti oli mutuufu oba mutuufu bw’akugamba nti oli mukyamu obeera mukyamu abadde takisa.”

EBY’OKUMUZIIKA:

Mutabani w’omugenzi, Enock Ssennyonga yategeezezza nti, omulambo gwa kitaawe baasazeewo gusuzibwe e Ntinda mu maka ge leero.

Ku ssaawa 4:00 wagenda kubeerawo okusaba ku kkanisa ya St. Luke e Ntinda n’oluvannyuma bagutwale e Kiweesa ku ssaawa 10:00 baddemu okusaba.

Oluvannyuma bajja kugutwala e Zigoti gumaleyo ennaku bbiri n’oluvannyuma bagutwale ku Enro Hotel okusaba kutandike ku ssaawa 4:00 ez’okumakya era wano w’agenda okuziikibwa. Yafudde kookolo w’omu mumimiro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...