TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kabushenga asabye Palamenti eggyewo omusolo gwa ttivvi

Kabushenga asabye Palamenti eggyewo omusolo gwa ttivvi

By Kizito Musoke

Added 8th December 2016

ROBERT Kabushenga, akulira kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde asabye Palamenti ekole ennongoosereza mu tteeka ly’ebyempuliziganya baggyewo omusolo omupya gwe baateeka ku mikutu gya ttivvi ne leediyo kuba byandireetera emikutu egimu okuggalawo olw’obutakola magoba.

Kontana1 703x422

Kabushenga (ku ddyo) ne Mark Walungama akulira ttivvi za Vision Group.

ROBERT Kabushenga, akulira kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde asabye Palamenti ekole ennongoosereza mu tteeka ly’ebyempuliziganya baggyewo omusolo omupya gwe baateeka ku mikutu gya ttivvi ne leediyo kuba byandireetera emikutu egimu okuggalawo olw’obutakola magoba.

Kabushenga yasinzidde mu kakiiko ka Palamenti akakola ku bya kompyuta ne tekinologiya gye yabadde ayitiddwa ng’akulira Vision Group n’abakulira ebitongole ebivunaanyizibwa ku byempuliziganya okuli; Uganda Institute of Information and Communications Technology ne National Information Techonology Agency (NITA).

Baabadde bayitiddwa akakiiko okuwaayo endowooza yaabwe ku kusaba kwa minisita w’ebyempuliziganya kwe yatwala mu Palamenti ng’ayagala bamuwe obuyinza okuleeta ebiragiro ebisobozesa etteeka okukola nga tamaze kubiyisa mu Palamenti.

Kabushenga yasabye akakiiko nti nga bwe baagala okukola ennongoosereza, bandibadde bakkiriza ne bakyusa mu tteeka, kuba mulimu akawaayiro akalagira okuggya omusolo omupya gwa bitundu bibiri ku buli 100 ku mikutu gya ttivvi ne leediyo.

Yagambye nti mu kiseera kino emikutu gino gisasula layisinsi n’omusolo mu URA.

Yategeezezza nti bwe bagattako okuwooza omusolo ogw’ebitundu ebibiri ku magoba wandyesanga nga giggaddewo olw’obutakola magoba.

Abakulira ebitongole bonna abaayitiddwa baawagidde ekya minisita okuweebwa obuyinza obumukkiriza okuleeta ebiragiro ebiruhhamya etteeka eribeera liyisiddwa.

Baagambye nti kino tebakirinaako buzibu kuba kijja kuleeta obwangu mu nzirukanya y’emirimu. Kyokka ababaka ba Palamenti abatuula ku kakiiko kano akakubirizibwa Maxwell Akora (Maruzi County/Apac) abasinga tebakkaanyizza na ndowooza eno, baagala Minisita ayite mu Palamenti.

Ababaka baategeezezza nti tewali bwetaavu bwa nnongoosereza mu tteeka lya mpuliziganya erya Uganda Communications Act, kuba n’etteeka lye nnyini bukya liyisibwa teriteekebwanga mu nkola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...