TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nnamukadde w'emyaka 60 abatemu bamusazeeko obulago

Nnamukadde w'emyaka 60 abatemu bamusazeeko obulago

By Musasi wa Bukedde

Added 8th December 2016

ENTIISA egudde ku kyalo Kiboobi mu ggombolola y’e Kisekka mu disitulikiti y’e Lwengo abatemu abatannategeerekeka bwe bazinze amaka ga Sarah Lukobe, 60 ne bamusalako obulago.

Wongo0 703x422

Nnamukadde Lukobe eyattiddwa. EBIFAANANYI YA FLORENCE TUMUPENDE

FLORENCE TUMUPENDE

ENTIISA egudde ku kyalo Kiboobi mu ggombolola y’e Kisekka mu disitulikiti y’e Lwengo abatemu abatannategeerekeka bwe bazinze amaka ga Sarah Lukobe, 60 ne bamusalako obulago.

Ssentebe w’ekyalo kino, John Ssempijja yategeezezza nti omutuuze Geoffrey Ssentamu yamukubidde essimu okumutegeeza ku butemu buno naye n’atemya ku poliisi y’e Kiwangala eyakubidde ey’e Lwengo okuleeta embwa ekonga olusu okukwata abatemu.

Omulambo gwasangiddwa nga gugahhalamye mu kitaba ky’omusaayi ng’obulago busaliddwaako nga ku mabbali wajjuddewo ebifunfugu n’ebbomba epika omukka mu mmotoka nga bino bigambibwa okuba ng’abatemu bye baakozeseza okumutta.

Yattiddwa okumpi n’omulyango gw’emmanju nga kiteeberezebwa okuba nti yabadde yeerwanako okufuluma wabula abatemu ne bamusinza amaanyi.

bimu ku byawongo ebyasangiddwa mu maka ga namukadde eyatiddwa mu ntiisa Ebimu ku byawongo ebyasangiddwa mu maka ga Nnamukadde eyatiddwa mu ntiisa

 

Wabula mu kimu ku bisenge mwasangiddwaamu ebyawongo omuli amafumu, embugo, obuwanga obutamanyiddwa oba bwa nsolo oba bantu.

Ate emmanju waasangiddwaayo essabo nga liri mu kifo awasakaatidde era ng’omuntu kizibu okuliraba amangu.

Omugenzi alese abaana munaana n’abazzukulu 20 kyokka nga mu nnyumba abadde asulamu yekka.

Abatuuze baategeezezza nti emyaka gy’amaze ku kitundu babadde tebamanyi nti musawo muganda kuba abadde musomi nnyo mu Klezia.

 bakungubazi nga beetoolodde amaka ga namukadde ukobe eyatiddwa Abakungubazi nga beetoolodde amaka ga Nnamukadde Lukobe eyatiddwa

 

Wabula basabye poliisi enoonyereze ku bantu abaakoze ettemu lino bakwatibwe.

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Lwengo, Robinah Birungi alabudde abantu okwewala okusaalimbira mu kifo awaba wagudde enjega yonna kuba kyongera okubuza obujulizi.

Alabudde abasawo b’ekinnansi okwewandiisa mu Gavumenti awamu n’okuteekanga ebbaluwa ezibakkiriza okukola ku mwanjo kuba mu maka g’omugenzi musangiddwaamu ebyawongo ate ng’abatuuze bagamba nti abadde mukkiriza kyokka ng’ate musawo wa kinnansi Oluvannyuma Dr. Herbert Lwanga yayitiddwa okwekebejja omulambo ne kizuulibwa nga yattiddwa buttibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev2 220x290

Museveni asisinkanye Abasumba ba...

Museveni asisinkanye Abasumba ba Klezia okuva mu Afrika

Kab2 220x290

Mukendeeze ku tulo musobole okweggya...

Mukendeeze ku tulo musobole okweggya mu bwavu-Museveni

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya