TOP

Akubyekubye mukazi we n'amwokyera n'engoye

By Peter Ssaava peter ssaava

Added 16th December 2016

POLIISI y’e Nansana mu Wakiso ekutte omusajja agambibwa okukuba n’okwokya engoye za mukyala we.

Mwana1 703x422

Kebirungi . Ku ddyo, bba Kato ng'annyonnyola

POLIISI y’e Nansana mu Wakiso ekutte omusajja agambibwa okukuba n’okwokya engoye za mukyala we.

Augustine Kato 40, nga mutuuze w'e Kabumbi mu Munisipaali y'e Nansana y'agambibwa okukuba mukyala we mu kiro ekyakeesezza ku Lwokusatu oluvannyuma n'ayokya engoye ze.

Omu ku baana ba Kato nga ye Ruth Kebirungi yategeezezza nti kitaawe yakomyewo ekiro ng’atamidde n'atandika okwogera ebigambo ebitakwatagana nga kw'atadde n’okubawemula mu ddoboozi erya waggulu.

Kebirungi agamba nti ku ssaawa 9:00 ez’ekiro yawulidde nga kitaawe akuba maama we n’azuukuka n'atandika okukaaba.

“Maama namuwulidde ng'akaaba ng'akuba n'enduulu nga yeegayirira taata obutamutta era wano baliraanwa baffe we baawuliridde ne bajja okulaba ekibaddewo era taata ne yeemulula n'adduka", Kebirungi bwe yategeezezza.

ngoye ezaayokeddwa Engoye ezaayokeddwa.

Ku makya g’Olwokusatu yakomyewo awaka ku ssaawa nga 12:00 wabula ng’akyaliko omwenge n'ayingira mu nnyumba n'aggyayo engoye za mukyala we n'atandika okuzookya ekyaleetedde mukyala we okuddukira ku poliisi eyasitukiddemu n'egenda n'emukwata.

Kato bwe yatuusiddwa ku poliisi yategeezezza nti yanyiize nnyo okudda awaka mukyala we n'amutegeeza nti empapula ze ez’obuyigirize yazisudde mu kaabuyonjo nga wano obusungu we bwavudde naye n'asalawo okwesasuliza ku ngoye.

Mukyala wa Kato nga ye Beatrice Kafamuhika yategeezezza nti omusajja tamuwa kitiibwa nga mukyala we ssaako okudda ewaka ng’atamidde ate nga talina kintu kyonna ky'aleka waka ekintu ekimunyiiza kwe kusalawo okusuula ebiwandiiko bye mu kaabuyonjo.

Kato akuumibwa ku poliisi y'e Nansana ng’okunoonyereza ku nsonga zino bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu