TOP
  • Home
  • Bugwanjuba
  • Mumbere asabye kkooti eggule emisango ku muduumizi wa UPDF

Mumbere asabye kkooti eggule emisango ku muduumizi wa UPDF

By Musasi wa Bukedde

Added 16th December 2016

OMUSINGA wa Rwenzururu, Charles Wesely Mumbere asinzidde mu kaguli n'abantu be 152 n’alangirira ng'omuduumizi w’ekibinja ky'eggye lya UPDF ekyokubiri Brig.

Omumbere703422 703x422

OMUSINGA wa Rwenzururu, Charles Wesely Mumbere asinzidde mu kaguli n'abantu be 152 n’alangirira ng'omuduumizi w’ekibinja ky'eggye lya UPDF ekyokubiri Brig.

Peter Erwelu bw'alina okuvunaanibwa emisango gy'okutulugunya abantu be. Emisango emirala gy'ayagala kuliko okusaalimbira mu Lubiri lwe.

Brig. Erwelu ye yaduumidde amagye agaalumbye olubiri lw'Omusinga ne gafuuza abakuumi ba Mumbere abaabadde bakoleramu effujjo nga bwe basinziira okulumba enkambi z’amagye era ebikwekweto byagenze okuggwa ng’abantu 70 n’omusobyo battiddwa ate abasoba mu 150 nga bakwatiddwa.

Mumbere ayise mu bannamateeka be abakulemberwa Caleb Alaka n’asaba kkooti ebeeko ky’ekola kw’abo abaatulugunya abantu be.

Mumbere ayongedde okutegeeza kkooti nti tebaakoma ku kutulugunya bantu be wabula naye baamutulugunya ebitalojjeka bwe baali bamutwalira mu Mamba y’amagye ku poliisi n’asaba Erwelu avunaanibwe.

Caleb Alaka yasabye kkooti abantu bonna abaatulugunyizibwa ne bafuna obukosefu okusooka okufuna obujjanjabi nga tebannatwalibwa mu kkomera n'okubakkiriza okulaba bannamateeka baabwe n’okubatwala mu makomera agamanyiddwa mu mateeka okusinga okubasibira mu bifo ebitategeerekeka.

Omulamuzi John Francis Kaggwa ali mu mitambo gy’omusango guno bino byonna abikkiriza era n’alagira Gavumenti okunoonyereza ku bantu abagambibwa okuba nga baatulugunyizibwa. Alagidde nti, kkooti lw'eddamu okutuula lipoota ku nsonga eno erina okuleetebwa.

Nga Mumbere tannaggula musango ku Brig. Erwelu, baasoose kumusomera olukunkmuli lw’emisango n’abakuumi be abawera 152 abaatuuse mu kkooti nga bonna bajjudde ebiwundu. Baasomeddwa emisango 41 wakati mu kwerinda okwamaanyi.

Emisango gino kuliko okulya mu nsi olukwe, obutemu, okubba, okusangibwa n'emmundu, n’okugezaako okutta abantu.

Ku baaleeteddwa mu kkooti kwabaddeko abakazi 19 n’abaana bana nga bonna baavunaaniddwa emisango gye gimu.

Omusango gw’obutujju guli gumu, ogw'okulya mu nsi olukwe gumu, egy’obutemu 17, egy’okubba emmundu 12, okugezaako okutta abantu ena n’egyokwonoona ebintu esatu.

Ku musango gw’okulya mu nsi olukwe, oludda oluwaabi lutegeezezza nti wakati w’omwezi gwa March ne November omwaka guno Omusinga Mumbere n’abalala baalumba poliisi ez'enjawulo mu bitundu by'e Kabalore ne Kasese ne babba emmundu, okutta abaserikale n’okutendeka abayeekera n’ekigendererwa eky’okumaamulako Gavumenti.

Ate ku musango gw’okubba emmundu, oludda oluwaabi lutegeezezza nga Omusinga ne banne bwe baalumba abaserikale ba poliisi mu bifo eby’enjawulo wakati wa March ne November ne babanyagako emmundu.

Ku bano kuliko ASP Samuel Lubega gwe baalumba nga November 26, mu bitundu by'e Kagando mu Kasese ne bamunyagako emmundu UG Pol 56-583175.

Mu balala ababbibwako emmundu kuliko SPC Christopher Kamagu, SPC Salim Luzinda, SPC Jonas Bwambale, CPL Kassim Kulaba, PC Isaac Ogal, PC Thomas Oganya, PC Robert Baluku, PC Henry Oyuk, PC Gaetano Awuchu, PS Edward Palio, PC Sulaiman Kakunda, D/ CPL Richrad Elai, SPC Samuel Musana ne Perekia Kwebiha eyabbibwako emmundu.

Baasindikiddwa ku limanda mu makomera ag’enjawulo omuli erya Kirinnya mu Jinja, Bugungu e Nyenga mu Buikwe, Jinja ne Luzira. Badda nga December 28.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salawo 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Bobi Wine alaze ky’agenda okuzzaako kyokka poliisi nayo erabudde aba People Power ku kugondera amateeka. Mulimu...

Giroud2 220x290

Besiktas eswamye Giroud okumuggya...

Giroud, yali omu ku bazannyi abaayamba Bufalansa okusitukira mu World Cup mu July wabula mu Chelsea, ennamba etandika...

Herreranerojo1 220x290

Abazannyi 4 ogwa ManU ne Wolves...

Rojo tannatereera bulungi buvune wabula okudda kwa Phil Jones kwakuggumiza ManU.

Meeyassenoganomumyukawekansalakaggwangaayogeramulukiikolwampigitowncouncil 220x290

Kirumira bamubbuddemu oluguudo...

Abakiise batenderezza Kirumira omwana waabwe enzaalwa y’e Mpambire mu Mpigi Town Council okubeera omusaale mu kutunda...

Omuvubukaabaddeyefuddeomulalungalikukabangaliyapoliisiempigi 220x290

Yeefudde omulalu n’ayingira ofiisi...

Omuvubuka ono yasoose kwesuula mu kidiba ky’ebbumba mu kabuga k’e Mpigi kyokka poliisi y’e Mpigi n’emunnyululayo...