TOP

Agambibwa okufera Zigoti akwatiddwa

By Kizito Musoke

Added 20th December 2016

OMUSAJJA agambibwa okufera omugagga w’e Mityana, Enock Kato Kisuule ‘Zigoti’ obuwumbi bubiri n’abulawo amaze n’akwatibwa n’atwalibwa mu kkooti, omulamuzi n’amusindika ku limanda.

Katozigoti11 703x422

Kato Zigoti

Bya KIZITO MUSOKE ne EDWARD LUYIMBAAZI

OMUSAJJA agambibwa okufera omugagga w’e Mityana, Enock Kato Kisuule ‘Zigoti’ obuwumbi bubiri n’abulawo amaze n’akwatibwa n’atwalibwa mu kkooti, omulamuzi n’amusindika ku limanda.

Omulamuzi Lilian Bucyana owa kkooti y’e Nakawa ye yasomedde Edward Muwawu Ddumba emisango gy’okufera omugagga Zigoti (kati omugenzi) ssente eziri mu buwumbi obubiri mu lukujjukujju n’amala n’abulawo.

Muwawu yeegaanyi emisango gyonna egimuvunaanibwa, omulamuzi n’asalawo okumusindika mu kkomera e Luzira okutuusa nga December 28, 2016 lw’alikomezebwawo mu kkooti.

Mu July wa 2016, Muwawu ng’ali ne munne Geoffrey Seggaayi baamatiza omugagga Kato nga bwe baalina ddiiru y’okuguza ekibiina ky’amawanga amagatte ekya ‘United Nations Development Capital Fund (UNDCF)’ emmwaanyi.

Ddiiru yali ya doola obukadde 12 (mu za Uganda bwe buwumbi 40 n’obukadde 800.)

Zigoti yasindika ttiimu y’abantu be ne bagenda e Nairobi mu Kenya gye baasisinkanira Abazungu be baali babateze ne babamatiza nti be baali abakungu b’ekibiina ky’Amawanga Amagatte.

 uwawu Muwawu

 

Ttiimu y’omugagga yakakasa nti ddala baali basisinkanye abantu abatuufu kuba baabalambuza n’ebizimbe by’ekitongole ne bategeeza nti gy’emirimu gye gimu gye baagala okukola mu Uganda.

Muwawu yategeeza Zigoti nti baali bamwesize kuba yalina obumanyirivu mu kugula emmwaanyi. Yamukuba akalimi nga buli kimu bwe kyali kiwedde, kyokka nga kyali kyetaagisaayo ddoola emitwalo 50 okusonjola emisoso emitono egyali gisigadde.

Zigoti yagenda mu bammanerenda ne yeewola ssente eziri mu buwumbi bubiri, kuba yali amaze okumatizibwa nti alina kuziwaayo mu bwangu.

Kyokka oluvannyuma yeekengera nti bandiba nga baamubba, kuba yaddamu okukuba ku ssimu ya Muwawu ne banne nga teziriiko.

Emikutu gye baayitangamu okuwuliziganya nga takyabafuna ne mu bifo byonna by’amusuubiramu nga taliimu.

Zigoti olwakitegeera nti abbiddwa yayisibwa bubi nnyo ne puleesa ne zirinnya.

Yapangisa abakugu mu by’okunoonyereza ne batandika okulinnya Muwawu ne Seggaayi akagere. Seggaayi baamukwata mu October, kyokka Muwawu n’asigala ng’akyabuze.

Kigambibwa nti puleesa Zigoti yamuyitirirako nga bammanerenda bamubanja ssente zaabwe omuli n’amagoba amangi ate ng’akyalemeddwa okukwata Muwawu agambibwa nti ye yakwasibwa ssente eziri mu buwumbi obubiri.

Bammanerenda baamuyitirirako nga baagala kuwamba byabugagga bye omuli n’ebyuma by’emmwaanyi bye yali yasingayo nga bamuwola ssente.

Embeera eno yaleetera omugenzi okulwala n’okuttuka endwadde n’atuuka n’okutwalibwa e Buyindi okujjanjabibwa kkansa.

Obulwadde tebwamuweeza n’afa n’aziikibwa e Mityana ku wooteeri ye eya Enro.

Wadde nga Kato yafa, kyokka abakugu mu by’okunoonyereza nga bakolaganira wamu n’ebitongole by’ebyokwerinda baasigala balinnya Muwawu akagere okutuusa lwe baamukutte.

MUWAWU SI GWE GUSOOSE OKUKWATIRWA MU BUFERE

Muwawu amanyiddwa mu Kampala olw’okuvuga emmotoka ez’ebbeeyi n’okucakaza abakazi mu bifo ebisanyukirwamu era amanyiddwa ng’omusajja owa ssente.

Mu August wa 2013, omulamuzi Atwooki Rugadya yasingisa Muwawu omusango gw’okufera n’amusindika mu kkomera yeebakeyo emyaka etaano.

Kyaddirira okufera Omuzungu enzaalwa ya Budaaki ayitibwa Jespersen Carseten ensimbi akawumbi kamu n’obukadde 600.

Kyokka Muwawu teyabandaala mu kkomera oluvannyuma lw’okujulira mu kkooti esingawo n’ayimbulwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga