TOP

Abooluganda 3 bafudde mu kabenje

By Henry Kasomoko Henry Kasomoko

Added 20th December 2016

ABOOLUGANDA basatu bafiiridde mu kabenje bwe babadde bava mu lukiiko lw’embaga ya mukulu waabwe e Kamwokya.

Aboluganda1 703x422

Ssanduuke omuli emirambo gy’abagenzi nga zitwalibwa gye banaaziikibwa.

Bya HENRY KASOMOKO NE PONSIANO NSIMBI

ABOOLUGANDA basatu bafiiridde mu kabenje bwe babadde bava mu lukiiko lw’embaga ya mukulu waabwe e Kamwokya.

Abagenzi kuliko; Naboth Turyahebwa, 27 omusuubuzi w’e Makindye mu Ndere Zooni, Simeo Mugumya 26 ng’ono abadde mutembeeyi ne Rogers Tulyafuna Mugisha omuvuzi wa bodaboda e Kamwokya ku siteegi ya Green Valley.

Owooluganda attottodde Bruno Agaba owooluganda lw’abagenzi yategeezezza nti abasatu okufuna kabenje ku luguudo lwa Yusuf Lule okumpi ne bbaala ya Casablanca, baabadde bava mu lukiiko lw’embaga ya mukulu waabwe, Obedi Mujuni olwabadde lutegekeddwa e Kamwokya mu Zooni ya Green Valley ng’embaga yaakubeerawo nga 28 January 2017.

 bakungubazi nga bakuhhaanidde ku dduuka lyomugenzi uryahebwa e akindye mu kere ooni Abakungubazi nga bakuhhaanidde ku dduuka ly’omugenzi Turyahebwa e Makindye mu Nkere Zooni.

 

Agaba yategeezezza nti oluvannyuma lw’okumaliriza olukiiko, buli omu yalinnye pikipiki ne boolekera oluguudo lwa Yusuf Lule okugenda e Makindye gye basula.

Agamba nti ye yavuze omugole Obedi Mujuni ku ppiki ate baganda baabwe abalala basatu; Turyahebwa, Mugumya ne Mugisha ne batuula ku pikipiki yaabwe nnamba UEH013V.

“Ffe twabasoose mu maaso nga tugenda e Makindye ku ssaawa 2:00 ez’ekiro gye babadde basula era bwe twatuuse ne tubalinda.

Nga wayiseewo eddakiika nga 30, nakubye ku ssimu zaabwe nga bonna tebazikwata! n’ez’abalala nga tezikwatibwa.

Omusirikale ng’akozesa essimu ya Turyahebwa yankubidde n’antegeeza nti bafunye akabenje. Emmotoka Ranger Ford nnamba UAY 435U eyabadde eva e Kampala ng’ekkirira ku Golf Course ye yabatomedde ne bagwa mu ndabirwamu zaayo,” Agaba bw’annyonnyola.

Agamba nti baagenze awaabadde akabenje era baasanze ababiri bassiddwa ku kabangali ng’ate omu akyali wansi alaajana.

Beegasse ku poliisi okuddusa Turyahebwa mu ddwaaliro e Mulago kyokka yafudde yaakatuusibwayo.

 

Ku ggwanika e Mulago

Ekikangabwa ky’okufiirwa abooluganda basatu omulundi gumu kyasombodde abenganda n’emikwano n’abantu abalala.

Ku ssaawa 6.00 ez’emisana, emirambo gy’abagenzi gyakwasiddwa abenganda ne gitikkibwa mu ambyulensi eyabadde egenda okugitambuza okugitwala mu disitulikiti y’e Mitoma mu ggombolola y’e Kabira.

Obedi Mujuni yategeezezza nti Turyahebwa ne Mugisha baakuziikibwa Kirambi mu disitulikiti y’e Mitooma ate Mugumya aziikibwe e Rukungiri.

Obubenje obusse abantu omwaka guno:

December 10: George Agaba eyali dayirekita ateekerateekera ekibuga mu KCCA yafudde mu kabenje ng’ali ne mwannyina wa Pulezidenti Museveni, Dr. Violet Kajubire eyasimattuse.

Suzan Namaganda eyali omubaka wa Bukomansimbi. Namaganda yafuna akabenje mu kibira ky’e Mpanga e Mpigi nga December 10, 2015 mmotoka ye Mark II UAM 228W bwe yatomeregana ne takisi nnamba UAU 822L.

December 11, 2015, kazannyirizi Alex Lumu amanyiddwa nga King Kong eyazinira mu luyimba lwa Eddy Kenzo olwa Maria Roza, yagwa ku kabenje mu mmotoka ye ku Golf Course n’alumizibwa era n’addusibwa mu ddwaliro e Mulago ng’embeera ye mbi.

December 18, 2015: Omugagga Crescent Baguma eyali nnannyini kkampuni ya Baguma Constructions yagwa ku kabenje e Rwera e Kyegegwa ku luguudo oluva e Kampala okudda e Fort Portal mu mmotoka ye Prado UAV 959V.

Abazannyi ba Uganda Cranes baafuna akabenje nga bava okutwalira pulezidenti Museveni ekikopo kya CECAFA kye baali bawangudde, abantu bataano baafa n’abazannyi ba Cranes basatu ne balumizibwa.

December 1, 2013: Aba takisi abaali bavugira mu paaka y’oku Cooper Complex abaali bagenda ku kabaga ka munnaAbwe e Masaka baagwa ku kabenje ku mugga Kalungi okumpi ne Kyabadaaza, bataano ne bafiirawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...