TOP

Agambibwa okufera Zigoti ayimbuddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 30th December 2016

EDWARD Muwawu avunaanibwa omusango gw’okufera omugagga Enock Kato eyali amanyiddwa nga Zigoti ayimbuddwa okuva mu kkomera e Luzira gy’amaze wiiki bbiri ku limanda aba famire y’omugenzi zigoti ne bakiika ensingo.

Male1 703x422

Muwawu ng’ali ku kkooti.

EDWARD Muwawu avunaanibwa omusango gw’okufera omugagga Enock Kato eyali amanyiddwa nga Zigoti ayimbuddwa okuva mu kkomera e Luzira gy’amaze wiiki bbiri ku limanda aba famire y’omugenzi zigoti ne bakiika ensingo.

Aba famire y’omugenzi Zigoti nabo baabadde bazze okuwulira eyakwatibwa olw’okufera kitaabwe ssente ng’avunaanibwa wabula kyababuseeko era ne baddayo nga beewuunya obutali bwenkanya obusensedde eggwanga.

Omulamuzi Lilian Bucyana owa kkooti ento e Nakawa ye yayimbudde Muwawu ku kakalu ka kkooti ka bukadde 2 ez’obuliwo ate abaamweyimiridde buli omu nalagirwa okusasula obukadde 20 ezitali zaabuliwo kyokka nga mikwano gye bangi nabo baabadde beeyiye ku kkooti okumutaasa.

Nga tannayimbulwa, waasoose kubaawo kanyoolagano wakati w’omuwaabi wa Gavumenti, Doreen Elima ne balooya ba Muwawu abaabadde bakulembeddwaamu Patrick Muganga.

Elima yabadde awakanya okuyimbulwa kwa Muwawu ng’agamba nti abantu abaaleetebwa okumweyimirira tebatuukiridde olw’ensonga nti ebifo gye basula bitankanibwa n’okuba nga tebamulinaako kakwate konna nga kino kireetawo okubuusabuusa mu bantu bano.

Wabula Muganga akiwakanyizza n’agamba nti eky’okubeera ng’abantu bano gye basula watankanibwa, tekigaana Muwawu kuyimbulwa ku kakalu ka kkooti kuba alina eddembe nga Munnayuganda okweyimirirwa.

Muwawu avunaanibwa n’abalala babiri okuli Geoffrey Sseggayi ne Stephen Nsubuga n’abalala abatannakwatibwa nga kigambibwa nti mu July omwaka guno nga basinziira mu bitundu eby’enjawulo mu Kampala baakozesa olukujjukujju ne babba omugagga Enock Kato (Zigoti) 341,500 eza doola ezikunukkiriza mu buwumbi 2 obwa Uganda nga bamusuubizza okufunira kkampuni ye ey’emmwaanyi eya Zigoti Coffee works Ltd kontulakiti y’okuguza emmwaanyi ekitongole kya United Nations (UN) ekitaali kituufu.

Kigambibwa baali Nairobi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.