TOP

Karungi gwe babba ku Chris Evans ayanjudde

By Josephat Sseguya

Added 1st January 2017

Omuwala ono abadde ku bunkenke era yatuuse mu kidaala ku ssaawa 11:30 ez’akawungeezi mu kwanjula okwabadde ku kyalo Kitiko ku lw’e Ntebe olupya e Kigo mu disitulikiti y’e Wakiso.

Kulu1 703x422

Jamila n’omusajja omupya, Fahd Kulumba gwe yayanjudde.

Bya JOSEPHAT SSEGUYA

OMUWALA gwe babba ku muyimbi Chris Evans assizza ekikkowe ng’omuko eyakyala ne baleeta kifaananyi awaka, atuuse mu kidaala n’awona okuswala. Bangi baabadde basiba ne ssente nti ne ku luno, omuko tagenda kujja bakomyawo kifaananyi.

Jamira Karungi eyali muninkini wa Evans, gwe baamubbako mu 2014 kyokka mu 2016 n’akyaza ekifaananyi mu bakadde ne bamuyiwako, yayanjudde bba, Fahad Kulumba akolera mu kibuga Boston mu Amerika.

 ulumba ngagwa taata wa arungi mu kifuba Kulumba ng’agwa taata wa Karungi mu kifuba.

 

Omuwala ono abadde ku bunkenke era yatuuse mu kidaala ku ssaawa 11:30 ez’akawungeezi mu kwanjula okwabadde ku kyalo Kitiko ku lw’e Ntebe olupya e Kigo mu disitulikiti y’e Wakiso.

Okwanjula kwabaddewo ku Lwokutaano era olwalengedde bba mu ntebe n’assa ekikkowe n’awanika n’emikono okwebaza Katonda abantu ne bamukubira obuluulu.

 bimu ku bintu bye baaleese Ebimu ku bintu bye baaleese.

 

Omukolo gwabadde munyuvu ng’ekizibu kyokka ekyabaddewo ky’aboogezi baagwo abaagukoze mu Lunyoro (ly’eggwanga lya Karungi) ng’ate abasinga ku mukolo baabadde Baganda.

Jamira yayambadde mushanana n’emperekezeze omwabadde ne Flavia Namulindwa owa Bukedde Ttivvi. Yasoose kwambala biddugavu n’azzaako ebimyufu era bwe baamukkirizza okutuulako mu ntebe ne bba, yacamuse wamma ne beeraga amapenzi olwo ng’abantu bakuba buluulu.

 eeki eyakoleddwa adde nga ku keeki baawandiiseeko alumba naye ye ulumba ate nga nerinnya lyomuwala ye arungi wabula baawandiise alungi Keeki eyakoleddwa. Wadde nga ku keeki baawandiiseeko Kalumba naye ye Kulumba ate nga n’erinnya ly’omuwala ye Karungi wabula baawandiise Kalungi.

 

Omukolo gwatandise kikeerezi era abako ebirabo by’abakulu baabireese mu kidaala ku ssaawa 1:30 ez’ekiro olwo ku ssaawa 2:30 ez’ekiro baabadde basala keeki.

Abazannyi b’Ebinnayuganda aba Zubair Family, Jamira mw’azannyira, baabaddewo Bbosa Sserunkuuma, Josiah akola ne Bukedde Ttivvi, Evelyn Lagu, Ann Birungi, Jane Francis, Haula Kasirye, Phiona Nalumu n’abalala.

 mugole ngakyusizza Omugole ng’akyusizza.

 

Chris Evans bwe baamubbako omuwala ono, yakuba oluyimba ‘Nebeerera eno mu nnaku yange’ ekyawaliriza omuwala ono okudda mu luyimba luno olwali lumukoona.

Wadde nga teyali muyimbi, yakuba oluyimba lwe yatuuma Kyerondera ng’ategeeza nga bwe yali yakyawa edda Evans olwo Fahd n’amusanga nga talina amwagala.

 bamu ku ba ubair amily abaabaddeyo u kono ye velyn agu Abamu ku ba Zubair Family abaabaddeyo. Ku Kkono ye Evelyn Lagu.

 

Omukolo gwawedde ku ssaawa 3:00 ez’ekiro abantu ne basigala kwesunga mbaga egenda okubeera ku Serena nga January 7, 2017.

 hris vans ne amila bwe baali bakyali mu mukwano Chris Evans ne Jamila bwe baali bakyali mu mukwano.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasibante2 220x290

Omubaka Kasibante atereezezza obufumbo...

MOSES Kasibante omubaka wa Lubaga North atereezezza amaka, bw’ayanjuddwa mu kitiibwa ku mukolo ogwetabiddwaako...

Jmcweb 220x290

Kyetume ekutudde JMC Hippos

Kyetume evudde emabega n'ewangula JMC Hippos mu Big League mu ddakiika ezisembayo

Afcon16 220x290

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda...

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda mu AFCON2018 e Cameroon.

2016manuvbournemouthbailly 220x290

AC Milan ayingidde olwokaano lw'okugula...

Bailly yava mu Vallrreal eya Spain okwegatta ku ManU.

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana