TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyasimattuse okufiira mu kabenje asaanyizzaawo abantu 7 alaze engeri gye yawonyeemu

Eyasimattuse okufiira mu kabenje asaanyizzaawo abantu 7 alaze engeri gye yawonyeemu

By peter ssaava

Added 2nd January 2017

Eyasimattuse okufiira mu kabenje asaanyizzaawo abantu 7 alaze engeri gyeyawonyeemu

Mo1 703x422

Eyasimattuse okufiira mu kabenje ate ku kkono y'emmotoka eysanyizzaawo abantu

EYASIMATTUSE okufiira mu kabenje akasse abantu musanvu mu bikujjuko by’olusooka omwaka mu zooni ya Ochieng e Nansana mu disitulikiti ye Wakiso attottodde bwe yawonye.

Kharim Ssembajjwe nga naye makanika ku Kanyogoga motor Garage e Nansana ategezezza nti ku lw’omukaaga Lukwago ne banne baamutegeeza nti bakukyakalira mu Nansana okutuusa nga bayingidde mu mwaka omupya era nabasaba bonna okukkiriza ekiteeso kye.

“Ku ssaawa munaana ogw’ekiro Lukwago(eyafudde) yansaba okumugulirayo ecupya ya bbiya wabula ne mutegeeza nti ssirina ssente era wano weyagambira nti tusimbule tudde ewaka olwo be twali  nabo ne balinnya mmotoka okudda eka.”Ssembajjwe bwategeezezza.

Ayongeddeko nti nga balinnya mmotoka yabategeeza nti kasooke agende okufuyisa akomewo abasange wabula mu kudda yasanga mmotoka ejjudde nga wano we yabategeereza nti ye katambule adde ewaka.

Nga bamaze okusimbula,Ssembajjwe agamba nti yatambula nadda ewuwe e Nansana ku Yesu Amala wabula aba ali wuwe ne bamukubira essimu nti b’abadde nabo mu kusanyuka bafiridde mu kabenje ekintu kye yayita eky’olusaago okutuusa munne omulala bwe yamukubira namugamba ekintu kye kimu olwo ne yesitula okugenda we bamugambye era nga wano emirambo gye gyamwanirizza wamu n’emiranga okuva mu batuuze.

Ye akulira poliisi y’ebidduka mu Nansana Benon Kiconco yategezezza nti mmotoka baagikebedde ne basanga ng’rimu amacupa  g’omwenge ate nga ne sipiidi kwe baabadde bavugira nga yawaggulu nnyo.

Mmotoka ekumiibwa ku poliisi ya Lubigi mu Nansana ng’okunonyereza bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pop1 220x290

Aba Poliisi ababadde bavunaanibwa...

Aba Poliisi ababadde bavunaanibwa okutta Kirumira bateereddwa

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza