TOP

Poliisi eremesezza embaga y'owemyaka 14

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd January 2017

Abaakwatidwa kuliko kitaawe w'omuwala Sheikh Abdu Karimu Ngobi 46, maama w'omugole Faridah Kagoya 35, kawasa Swalik Talyaka 22 n'omuwala gwe babadde bafumbiza ow’emyaka 14 nga bamuggye mu ssomero ng'abadde asoma S.2 mu Menya SS.

Kadaali1 703x422

Omugole baamutwalidde mu kadaali

Bya Ivan Wakibi

POLIISI e Iganga erinnye eggere mu mbaga ebadde egenda mu maaso lwa muwala kubeera muto n'ekwata bazadde b'omuwala, omuko n'omuwala gwe babadde bafumbiza nga basangiddwa mu kidaala ng'endongo esindogoma.

Abaserikale baakulembeddwa akulira poliisi e Iganga Nassibu Nditta ne boolekera ekyalo Bulyansime mu ggombolola Igombe mu disitulikiti y’e Iganga era yayodde n'abamu ku bagenyi abaayitiddwa ku mbaga.

Abaakwatidwa kuliko kitaawe w'omuwala Sheikh Abdu Karimu Ngobi 46, maama w'omugole Faridah Kagoya 35, kawasa Swalik Talyaka 22 n'omuwala gwe babadde bafumbiza ow’emyaka 14 nga bamuggye mu ssomero ng'abadde asoma S.2 mu Menya SS.

Nditta agambye nti okubakwata kyaddiridde abamu ku batuuze mu kitundu okubatemyako ng'emikolo gigenda mu maaso nga baalumiriddwa omuwala ono okumuggya mu ssomero ne bamufumbiza.

Omuko Talyaka agambye nti abadde tamanyi nti omuwala akyali muto era nga yasasula ssente 2,000,000/- embuzi, enkoko n'ebirala.

Agasseko nti awulira bubi okumulemesa omukazi kyokka bamuddiremu tagenda kubanja kintu kyonna naye baalumusuulamu nti, omuwala yakula dda.

Ye Ngobi ategeezezza nti muwala we mukulu alina emyaka 18 era okumufumbiza yasooka kudduka mu ssomero n'agenda n'afumbirwa omulenzi ono n'afuna n'olubuto nga lwa myezi etaano n'asaba bakkirizibwe balongoose obufumbo bwabwe.

Agambye nti bawala be abasinga bava mu ssomero ng'akyabaweerera ne badduka n'abalenzi.

Mukyala we Kagoya agambye nti abantu ku kyalo tebaagaliza muwala waabwe kufumbirwa.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu wa East Busoga, James Mubi agambye nti, omuko bamugguddeko omusango gw'okusobya ku muwala ate abazadde ne baggulwako okugezaako okufumbiza omuwala omuto.

Alabudde abazadde obutageza kufumbiza baana bato kubanga kimenya mateeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...